7 Awo ne nunda ekisibo ekyateekebwateekebwa okuttibwa, okusingira ddala ezaali zijoogebwa. Ne ntwala emiggo gy’abasumba ebiri, ogumu ne ngutuuma erinnya Kisa, omulala ne ngutuuma Kwegatta era ne ndiisa endiga. 8 Mu mwezi gumu ne neegobako abasumba basatu, emmeeme yange ng’ebakyaye era nabo nga bankyaye. 9 Awo ne ndyoka ŋŋamba nti, “Siibeere musumba wammwe, ekinaafa leka kife, ekyokwonooneka kyonooneke, era leka ebyo ebisigaddewo biryaŋŋane, buli kimu kirye kinnaakyo.”
10 Ne ndyoka nkwata omuggo gwange Kisa ne ngumenya, ne mmenya endagaano gye nnali nkoze n’abantu bonna. 11 Endagaano n’agikomya ku lunaku olwo era abasuubuzi b’endiga abaali bandaba ne bamanya nti ekyo kyali kigambo kya Katonda.
12 Ne ndyoka mbagamba nti, “Bwe kiba nga kisaanidde mu maaso gammwe mumpe empeera yange; naye obanga temusiimye mulekeeyo.” Awo ne bambalira ensimbi eza ffeeza amakumi asatu.
13 Awo Mukama n’aŋŋamba nti, “Zisuulire omubumbi,” omuwendo guno ogw’ekitalo gwe bansasula! Kale ne ntwala ensimbi amakumi asatu eza ffeeza ne nzisuulira omubumbi mu nnyumba ya Mukama.
14 Awo ne mmenya omuggo gwange ogwokubiri Kwegatta, okulaga nti obumu obwali wakati wa Yuda ne Isirayiri bwali bukomye. 15 Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Twala nate ebintu eby’omusumba omusirusiru bye yandikozesezza. 16 Kubanga laba, nze nyimusizza omusumba mu nsi atafaayo ku ndiga ezizikirira era atanoonya zisaasaanye, era atayunga zimenyese wadde okuliisa ennamu, naye alya ensolo ensava ng’aziyuzaako ebinuulo.