3
1 Ekiro kyonna nga ndi ku kitanda kyange,
nalindirira emmeeme yange gw’eyagala,
ne munoonya naye saamulaba.
2 Nnaagolokoka ne ntambulatambulako mu kibuga,
mu nguudo ne mu bifo ebigazi;
nanoonya emmeeme yange gw’eyagala,
ne nnindirira naye saamulaba.
3 Abakuumi b’ekibuga
abaali balawuna mu kibuga, ne bansisinkana, ne mbabuuza nti,
“Mundabidde ku oyo emmeeme yange gw’eyagala?”
4 Twali twakayisiŋŋanya,
ne ndaba oyo emmeeme yange gw’eyagala.
Ne munnywegera ne simuganya kugenda,
okutuusa lwe namuleeta mu nnyumba ya mmange,
ne mutwala mu kisenge ky’oyo eyanzaala.
5 Mbakuutira mmwe abawala ba Yerusaalemi,
ng’empeewo n’enjaza ez’oku ttale,
temusisimula newaakubadde okuzuukusa okwagala
okutuusa nga kwesiimidde.
6 Ani oyo ajja ng’ava mu ddungu,
afaanana ng’empagi ey’omukka,
asaabye ebyakaloosa ebya mooli n’omugavu,
okuva mu byakaloosa byonna eby’omusuubuzi?
7 Laba, kye kigaali kya Sulemaani,
ekiwerekeddwako abasajja ab’amaanyi nga nkaaga,
abalwanyi abazira abasingayo mu Isirayiri,
8 bonna balina ebitala,
era bamanyirivu mu kulwana;
buli omu n’ekitala kye mu kiwato kye,
nga beetegekedde entiisa ey’ekiro.
9 Kabaka Sulemaani yeekolera ekigaali
eky’emiti egy’omu Lebanooni.
10 Empagi zaakyo yazisiigako ffeeza,
ne wansi waakyo nga wa zaabu,
n’entebe yaamu ng’eriko olugoye lwa ffulungu;
ne munda nga mwaliire bulungi n’okwagala,
okw’abawala ba Yerusaalemi.
11 Mufulume, mmwe abawala ba Sayuuni,
mulabe ku Kabaka Sulemaani ng’ayambadde engule,
engule nnyina gye yamutikkira
ku lunaku olw’embaga ye,