1 Kaakano mbanjulira Foyibe mwannyinaffe, era omuweereza w’ekkanisa[a] ey’omu Kenkereya. 2 Mumwanirize mu Mukama waffe, nga bwe kigwanidde abatukuvu, era muyimirire naye nga mumuyamba mu nsonga yonna gye yeetaaga, kubanga naye yennyini yayamba bangi era nange kennyini.
3 Mundabire Pulisikira ne Akula, bwe tukola omulimu mu Kristo Yesu, 4 abeewaayo wakiri okutemwako emitwe olw’obulamu bwange, era si beebaza bokka wabula n’Ekkanisa z’Abamawanga zonna.
5 Mutuuse okulamusa kwange eri abo bonna abakuŋŋaana ng’ekkanisa mu maka gaabwe.
Mundabire mukwano gwange omwagalwa Epayineeto, kye kibala eky’olubereberye eky’omu Asiya eri Kristo.
6 Mundabire Maliyamu eyabakolera ennyo.
7 Mundabire Anduloniiko ne Yuniya ab’ekika kyange, abaasibibwa awamu nange mu kkomera, era bassibwamu nnyo ekitiibwa abatume era be bansooka okubeera mu Kristo.
8 Mundabire Ampuliyaato omwagalwa wange mu Mukama waffe.
9 Mundabire Ulubano, mukozi munnaffe mu Kristo, n’omwagalwa waffe Sutaku.