Link to home pageLanguagesLink to all Bible versions on this site
Zabbuli 93
1 Mukama afuga; ayambadde ekitiibwa.
Mukama ayambadde ekitiibwa
era yeesibye amaanyi.
Ensi yanywezebwa;
teyinza kunyeenyezebwa.
2 Entebe yo ey’obwakabaka yanywezebwa okuva edda n’edda.
Ggwe, Ayi Katonda, oli wa mirembe na mirembe.
 
3 Amayengo gatumbidde, Ayi Mukama;
ennyanja ziyimusizza amaloboozi gaazo,
n’amazzi g’ennyanja gayira.
4 Mukama, Ali Waggulu Ennyo,
oli wa maanyi okusinga okuyira kw’amazzi amangi;
oli wa maanyi okusinga amayengo g’ennyanja.
 
5 Ayi Mukama ebiragiro byo binywevu,
n’obutukuvu bujjudde ennyumba yo,
ennaku zonna.

<- Zabbuli 92Zabbuli 94 ->