Link to home pageLanguagesLink to all Bible versions on this site
Zabbuli 76
Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Asafu.
1 Katonda amanyiddwa mu Yuda;
erinnya lye kkulu mu Isirayiri.
2 Eweema ye eri mu Yerusaalemi;
era abeera mu Sayuuni.
3 Eyo gy’asinziira n’amenyaamenya obusaale bw’omulabe obujja bwesooza;
n’engabo n’ebitala n’ebyokulwanyisa byonna eby’olutalo.
 
4 Owa ekitangaala,
oli wa kitiibwa okusinga ensozi ennene eziriko ensolo eziyiggibwa.
5 Ab’amaanyi bagalamira nga banyaguluddwa,
beebaka ne batasobola kugolokoka,
ne watabaawo n’omu asobola
okuyimusa omukono gwe.
6 Bw’obaboggolera, Ayi Katonda wa Yakobo,
abeebagala embalaasi ezisika ebigaali bagwiira wamu n’ebigaali ne batagolokoka.
 
7 Ggwe ayi Katonda, osaanira okutiibwanga.
Ani ayinza okuyimirira mu maaso go ng’osunguwadde?
8 Osalira abantu emisango ng’osinziira mu ggulu,
ensi n’etya n’ekankana n’esirika olw’obusungu bwo,
9 bw’ogolokoka okusala omusango,
okuwonya ababonyaabonyezebwa mu nsi.
10 Bw’osunguwalira omuntu kikuleetera okutenderezebwa,
n’abo b’otasunguwalidde ne beegendereza.
11 Mweyame obweyamo bwammwe eri Mukama Katonda wammwe, era mubutuukirizenga;
bonna abamuli okumpi bamuleetere ebirabo,
kubanga asaanidde okutiibwa.
12 Mukama akkakkanya abalangira,
ne bakabaka b’ensi bamutya.

<- Zabbuli 75Zabbuli 77 ->