Zabbuli 64
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
1 Ayi Katonda, owulire eddoboozi lyange, ery’okwemulugunya kwange;
okuume obulamu bwange eri okutiisibwatiisibwa omulabe.
2 Onkweke mpone enkwe z’abakola ebibi,
onzigye mu kibinja ky’aboonoonyi, abaleekaana
3 abawagala ennimi zaabwe ng’ebitala,
ne balasa ebigambo byabwe ng’obusaale obutta.
4 Beekweka ne bateega oyo atalina musango bamulase;
amangwago ne bamulasa nga tebatya.
5 Bawagiragana mu kigendererwa kyabwe ekibi
ne bateesa okutega emitego mu kyama;
ne boogera nti, “Ani asobola okutulaba?”
6 Beekobaana okukola ebitali bya bwenkanya, ne boogera nti,
“Tukoze enteekateeka empitirivu.”
Ddala ddala ebirowoozo by’omuntu n’omutima gwe byekusifu.
7 Naye Katonda alibalasa n’obusaale bwe;
alibafumita, mangwago ne bagwa ku ttaka.
8 Ebyo bye boogera biribaddira,
ne bibazikiriza,
ababalaba ne babanyeenyeza emitwe.
9 Olwo abantu bonna ne batya,
ne bategeeza abalala omulimu gwa Katonda,
ne bafumiitiriza ku ebyo by’akoze.
10 Omutuukirivu ajagulizenga mu Mukama,
era yeekwekenga mu ye.