Zabbuli 53
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
1 Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti,
“Tewali Katonda.”
Boonoonefu, n’empisa zaabwe mbi nnyo;
tewali n’omu akola kirungi.
2 Katonda atunuulira abaana b’abantu
ng’asinziira mu ggulu,
alabe obanga mulimu mu bo abamutegeera
era abamunoonya.
3 Bonna bamukubye amabega
ne boonooneka;
tewali akola kirungi,
tewali n’omu.
4 Aboonoonyi tebaliyiga?
Basaanyaawo abantu bange, ng’abalya emmere;
so tebakoowoola Katonda.
5 Balitya okutya okutagambika;
kubanga Katonda alisaasaanya amagumba g’abalabe be.
Baliswazibwa
kubanga Katonda yabanyooma.
6 Singa obulokozi bwa Isirayiri bufuluma mu Sayuuni,
Katonda n’akomyawo emirembe eri abantu be,