Link to home pageLanguagesLink to all Bible versions on this site
Zabbuli 15
Zabbuli ya Dawudi.
1 Ayi Mukama, ani anaabeeranga mu nnyumba yo?
Ani anaatuulanga ku lusozi lwo olutukuvu?
 
2 Oyo ataliiko kya kunenyezebwa,
akola eby’obutuukirivu,
era ayogera eby’amazima nga biviira ddala mu mutima gwe.
3 Olulimi lwe talwogeza bya bulimba,
era mikwano gye tagiyisa bubi,
so tasaasaanya ŋŋambo ku baliraanwa be.
4 Anyooma ababi,
naye abatya Mukama abassaamu ekitiibwa.
Atuukiriza ky’asuubiza
ne bwe kiba nga kimulumya.
5 Bw’awola tasaba magoba;
so takkiriza kulya nguzi ku muntu yenna.
 
Oyo akola ebyo
aliba munywevu emirembe gyonna.

<- Zabbuli 14Zabbuli 16 ->