Zabbuli 137
1 Twatuula ku mabbali g’emigga gy’e Babulooni,
ne tukaaba amaziga bwe twajjukira Sayuuni.
2 Ne tuwanika ennanga zaffe
ku miti egyali awo.
3 Abaatunyaga ne batulagira okuyimba,
abaatubonyaabonya ne batulagira okusanyuka;
nga bagamba nti, “Mutuyimbireyo lumu ku nnyimba za Sayuuni.”
4 Tunaayimba tutya oluyimba lwa Mukama
mu nsi eteri yaffe?
5 Bwe nnaakwerabiranga, ggwe Yerusaalemi,
omukono gwange ogwa ddyo gukale!
6 Olulimi lwange lwesibire waggulu w’ekibuno kyange
singa nkwerabira,
ggwe Yerusaalemi, ne sikulowoozaako
okusinga ebintu ebirala byonna.
7 Jjukira, Ayi Mukama, batabani ba Edomu kye baakola,[a]
ku lunaku Yerusaalemi lwe kyawambibwa;
ne baleekaana nti, “Kisuule,
kimalirewo ddala n’emisingi gyakyo.”
8 Ggwe omuwala wa Babulooni, agenda okuzikirizibwa,
yeesiimye oyo alikusasula ebyo
nga naawe bye watukola.
9 Yeesiimye oyo aliddira abaana bo
n’ababetentera[b] ku lwazi.
<- Zabbuli 136Zabbuli 138 ->
- a Nebukadduneeza bwe yazikiriza Yerusaalemi, bazzukulu ba Edomu baasanyuka okulaba ng’abalabe baabwe Abayisirayiri bazikiridde. Kino kyali kibi nnyo kubanga Abayisirayiri ne bazzukulu ba Edomu baaluganda. Bazzukulu ba Edomu bava mu Esawu
- b Okukakasa nga tewaba n’omu ku b’omu kibuga ekiwambiddwa asigalawo, abaakiwambanga baabetentanga emitwe gy’abaana abato ab’omu kibuga ekyo ku lwazi