Zabbuli 133
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.
1 Laba bwe kiri ekirungi era nga kisanyusa,
abooluganda okubeera awamu nga batabaganye.
2 Kiri ng’amafuta ag’omuwendo omungi agafukibwa ku mutwe gwa Alooni
ne gakulukutira mu kirevu;
gakulukutira mu kirevu kya Alooni,
ne gakka ku kitogi ky’ebyambalo bye.
3 Kiri ng’omusulo gw’oku lusozi Kerumooni,
ogugwa ne ku nsozi za Sayuuni;
kubanga eyo Mukama gy’agabira omukisa