Link to home pageLanguagesLink to all Bible versions on this site
Zabbuli 131
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.
1 Ayi Mukama siri wa malala,
so n’amaaso gange tegeegulumiza.
Siruubirira bintu binsukiridde
newaakubadde ebintu eby’ekitalo ebinsinga.
2 Naye ŋŋonzezza emmeeme yange era ngisiriikirizza
ng’omwana bw’asiriikirira nga nnyina amuggye ku mabeere.
Omwana avudde ku mabeere nga bw’asiriikirira, n’emmeeme yange bw’eri bw’etyo.
 
3 Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama
okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.

<- Zabbuli 130Zabbuli 132 ->