Link to home pageLanguagesLink to all Bible versions on this site
Zabbuli 130
Oluyimba nga balinnya amadaala.
1 Ayi Mukama, nkukaabira nga nsobeddwa nnyo.
2 Ayi Mukama, wulira eddoboozi lyange;
otege amatu go
eri eddoboozi ly’okwegayirira kwange.
 
3 Ayi Mukama, singa otubalira obutali butuukirivu bwaffe,
ani eyandiyimiridde mu maaso go?
4 Naye osonyiwa;
noolwekyo ossibwamu ekitiibwa.
 
5 Nnindirira Mukama, emmeeme yange erindirira
era essuubi lyange liri mu kigambo kye.
6 Emmeeme yange erindirira Mukama;
mmulindirira okusinga ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya;
okusingira ddala ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya.
 
7 Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama,
kubanga Mukama y’alina okwagala okutaggwaawo;
era y’alina okununula okutuukiridde.
8 Mukama y’alinunula Isirayiri n’amuggya
mu byonoono bye byonna.

<- Zabbuli 129Zabbuli 131 ->