Link to home pageLanguagesLink to all Bible versions on this site
Zabbuli 126
Oluyimba nga balinnya amadaala.
1 Mukama bwe yakomyawo abawaŋŋanguse ba Sayuuni,
twafaanana ng’abaloota.
2 Olwo akamwa kaffe ne kajjula enseko,
ne nnimi zaffe ne ziyimba ennyimba ez’essanyu.
Amawanga ne gagamba nti,
Mukama abakoledde ebikulu.”
3 Mukama atukoledde ebikulu,
kyetuvudde tusanyuka.
 
4 Otuzze obuggya, Ayi Mukama,
tufaanane ng’emigga egikulukutira mu lusenyi.
5 Abo abasiga nga bakaaba amaziga,
baliyimba ennyimba ez’essanyu nga bakungula.
6 Oyo agenda ng’akaaba
ng’atwala ensigo okusiga;
alikomawo ng’ayimba ennyimba ez’essanyu
ng’aleeta ebinywa bye.

<- Zabbuli 125Zabbuli 127 ->