Link to home pageLanguagesLink to all Bible versions on this site
Zabbuli 121
Oluyimba nga balinnya amadaala.
1 Nnyimusa amaaso gange eri ensozi,
okubeerwa kwange kuva wa?
2 Okubeerwa kwange kuva eri Mukama,
eyakola eggulu n’ensi.
 
3 Taliganya kigere kyo kusagaasagana;
oyo akukuuma taabongootenga.
4 Laba, oyo akuuma Isirayiri
taabongootenga so teyeebakenga.
 
5 Mukama ye mukuumi wo;
Mukama y’akusiikiriza ku mukono gwo ogwa ddyo;
6 emisana enjuba teekwokyenga,
wadde omwezi ekiro.
 
7 Mukama anaakukuumanga mu buli kabi;
anaalabiriranga obulamu bwo.
8 Mukama anaakukumanga amagenda go n’amadda,
okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.

<- Zabbuli 120Zabbuli 122 ->