Link to home pageLanguagesLink to all Bible versions on this site
Zabbuli 120
Oluyimba nga balinnya amadaala.
1 Nkoowoola Mukama nga ndi mu nnaku,
era n’annyanukula.
2 Omponye, Ayi Mukama,
emimwa egy’obulimba,
n’olulimi olw’obukuusa.
 
3 Onooweebwa ki,
era onookolebwa otya, ggwe olulimi olukuusa?
4 Onoofumitibwa n’obusaale obwogi obw’omulwanyi omuzira,
n’oyokerwa ku manda ag’omuti entaseesa.
 
5 Ndabye ennaku, kubanga mbeera mu Meseki;
nsula mu weema za Kedali!
6 Ndudde nnyo
mu bantu abakyawa eddembe.
7 Nze njagala mirembe,
naye bwe njogera bo baagala ntalo.

<- Zabbuli 119Zabbuli 121 ->