Link to home pageLanguagesLink to all Bible versions on this site
20
1 Omwenge mukudaazi, ekitamiiza muleekaanyi,
era buli alaga mu kkubo ekyamu olw’ebyo talina magezi.
 
2 Obusungu bwa kabaka buli ng’okuwuluguma kw’empologoma,
n’oyo amusunguwaza yeefiiriza bulamu bwe.
 
3 Kya kitiibwa omuntu okwewala entalo,
naye buli musirusiru ayagala okuyomba.
 
4 Omugayaavu talima mu budde butuufu,
kyanaavanga anoonya eby’amakungula nga talina kantu.
 
5 Ebigendererwa ebiba mu mutima gw’omuntu biba ng’amazzi ag’ebuziba,
naye omuntu alina okutegeera alibiggyayo.
 
6 Abantu bangi bagamba nti balina okwagala okutaggwaawo,
naye ani ayinza okuzuula omuntu omwesigwa?
 
7 Omuntu omutuukirivu, atambulira mu bulamu obutaliiko kyakunenyezebwa;
ba mukisa abaana be abalimuddira mu bigere.
 
8 Kabaka bw’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka ng’asala emisango,
amaaso ge gasunsulamu ne gaggyamu ebibi byonna.
 
9 Ani ayinza okugamba nti, “Ntukuzza omutima gwange,
ndi mulongoofu era sirina kibi?”
 
10 Ebipima obuzito ebitatuuka n’ebigera ebikyamu,
byombi bya muzizo eri Mukama.
 
11 Omuvubuka naye amanyibwa olw’ebikolwa bye,
obanga birongoofu era nga birungi.
 
12 Okutu okuwulira n’eriiso eriraba
byombi Mukama ye y’abikola.
 
13 Toyagalanga kwebaka oleme kwavuwala,
tunula, obeerenga n’ebyokulya bingi.
 
14 “Si kirungi, si kirungi,” bw’ayogera agula;
naye bw’agenda n’alyoka yeenyumiririza mu ky’aguze.
 
15 Zaabu n’amayinja ag’omuwendo weebiri,
naye emimwa egyogera eby’amagezi kye ky’omuwendo ekisingako.
 
16 Omuntu bw’aleeta ekyambalo kye ne yeeyimiririra gw’atamanyi,
kitwalire ddala, na ddala bw’abanga yeeyimiririra omukazi omubambaavu.
 
17 Emmere enfune mu bukyamu ewooma mu kulya,
naye emufuukira amayinja mu kamwa.
 
18 Kola entegeka nga weebuuza ku magezi,
bw’oba onoolangirira olutalo sooka weebuuze.
 
19 Oyo agenda ng’asaasaanya olugambo abotola ebyama,
noolwekyo weewale omuntu ayogerayogera ennyo ebitaliimu.
 
20 Omuntu akolimira kitaawe oba nnyina,
ettabaaza ye erizikizibwa n’asigala mu kizikiza ekikutte ennyo.
 
21 Eby’obusika ebifune ng’ekiseera kyabyo tekinnatuuka,
ku nkomerero tebiba na mukisa.
 
22 Toyogera nti, “Nzija kukusasula olw’ekibi kino!”
Lindirira Mukama alikuyamba.
 
23 Ebipima ebikyamu bya muzizo eri Mukama,
ne minzaani ez’obulimba tezisanyusa.
 
24 Amakubo g’omuntu gategekebwa Mukama,
omuntu ayinza atya okutegeera ekkubo lya Mukama?
 
25 Kyambika eri omuntu okwanguyiriza okweyama eri Mukama,
naye oluvannyuma n’afumiitiriza ku bye yeeyamye.
 
26 Kabaka omugezi asengejja n’aggyamu abakozi b’ebibi,
n’ababonereza awatali kusaasira.
 
27 Ettabaaza ya Mukama ekebera omwoyo gw’omuntu,
n’enoonya mu bitundu eby’omunda ennyo.
 
28 Okwagala n’obwesigwa bikuuma kabaka mu butebenkevu,
era obufuzi bwe bunywezebwa na kwagala.
 
29 Amaanyi kye kitiibwa ky’abavubuka,
envi kye kitiibwa ky’abakadde.
 
30 Emiggo n’ebiwundu biggyawo ebibi,
n’embooko zitereeza ebifo eby’omunda ennyo.