17
1 Okulya akamere akaluma awali emirembe,
kisinga okuba mu nnyumba ejjudde ebyassava nga mulimu entalo.
2 Omuddu omugezi alifuga omwana wa bowo akwasa ensonyi,
era alifuna ebyobusika ng’omu ku baana b’awaka.
3 Entamu erongoosa yakolebwa lwa ffeeza, n’ekikoomi ky’okulongoosa lwa zaabu,
naye Mukama agezesa emitima.
4 Omubi assaayo omwoyo eri eby’obulimba,
era n’omulimba awuliriza olulimi olukuusa.
5 Oyo akudaalira omwavu avvoola eyamutonda,
n’oyo asanyukira obuyinike bw’abalala talirema kubonerezebwa.
6 Abazzukulu ngule ya bajjajjaabwe,
era n’abaana beenyumiririza mu bakadde baabwe.
7 Enjogerannungi teba ya musirusiru,
ng’oweekitiibwa bw’atasaana kwogera bya bulimba.
8 Enguzi eri ng’ejjinja ery’omufuusa mu maaso g’oyo agigaba,
alowooza nti buli gy’akyukira eneemuyamba.
9 Okwagala tekulondoola nsobi,
naye oyo atasonyiwa nsobi akyawaganya ab’omukwano enfirabulago.
10 Okunenya kuyamba nnyo omuntu ategeera,
okusinga okukuba omusirusiru embooko ekikumi.
11 Omukozi w’ebibi anoonya bujeemu bwereere,
era kyaliva asindikirwa omubaka omukambwe.
12 Okusisinkana eddubu enyagiddwako abaana baayo,
kisinga okusisinkana omusirusiru mu busirusiru bwe.
Ebbeeyi y’Amagezi
13 Omuntu bw’asasula ekibi olw’obulungi,
ekibi tekiriva mu nnyumba ye.
14 Okutandika oluyombo kuli ng’omuntu bw’asumulula omudumu gw’amazzi,
noolwekyo vvaawo ng’oluyombo terunnatandika.
15 Eyejjeereza omukozi w’ebibi n’oyo avumirira omutuukirivu,
bombi ba muzizo eri Mukama.
16 Omusirusiru agasibwa ki okuba ne ssente ezisasulibwa amagezi,
ng’ate ye talina mutima gwegomba magezi?
17 Omukwano ogw’amagezi guba gwa lubeerera,
era owooluganda yeesigibwa mu biro eby’ennaku.
18 Omuntu atalina magezi awa obweyamo
ne yeetema okusasula amabanja ga muliraanwa we.
19 Oyo ayagala ekibi anyumirwa ennyombo,
n’oyo akola omulyango omunene ogw’omu maaso gwa bbugwe ye nga guyitiridde obunene gulimuteganya nnyo.
20 Omuntu ow’omutima omubambaavu takulaakulana,
n’oyo ow’olulimi olulimba agwa mu katyabaga.
21 Omwana omusirusiru aleetera kitaawe obuyinike,
kitaawe w’omusirusiru taba na ssanyu.
22 Omutima ogw’essanyu ddagala ddungi,
naye omwoyo omunyiikaavu gukozza omubiri.
23 Omuntu omubi alya enguzi mu kyama,
alyoke aziyize amazima okweyoleka.
24 Omuntu omutegeevu, ebirowoozo abissa eri amagezi,
naye amaaso g’omusirusiru gasamaalirira ensi gy’ekoma.
25 Omwana omusirusiru buyinike eri kitaawe,
era aleeta ennaku eri nnyina eyamuzaala.
26 Si kirungi okuweesa omutuukirivu engassi ey’obwereere
wadde okukuba ab’ekitiibwa embooko olw’obwesimbu bwabwe.
27 Omuntu omwegendereza mu bigambo bye abeera n’okutegeera,
n’oyo alina omwoyo omuteefu aba muntu wa magezi.
28 Omusirusiru bw’asirika alowoozebwa okuba n’amugezi,