Firemooni
1 Pawulo, omusibe wa Kristo Yesu, n’owooluganda Timoseewo, tuwandiikira ggwe Firemooni, mukozi munnaffe omwagalwa, 2 ne Apofiya mwannyinaffe, ne Alukipo mulwanyi munnaffe, n’Ekkanisa yonna ekuŋŋaanira mu nnyumba yo.
17 Obanga ddala ndi munno, mwanirize mu ngeri y’emu nga bwe wandinnyanirizza singa nze mbadde nzize. 18 Obanga waliwo ekintu ekibi kye yakukola, oba ekintu ky’omubanja, kimbalirweko. 19 Kino nkiwandiika mu mukono gwange nze, Pawulo, nti ndikusasula. Sijja kukugamba nti olina ebbanja lyange. 20 Munnange owooluganda, nkolera ekikolwa kino ekiraga okwagala, omutima gwange guddemu amaanyi mu Kristo. 21 Nkuwandiikidde ebbaluwa eno nga neesigira ddala nga kye nkusaba ojja kukikola n’okusingawo! 22 Nninayo n’ekirala kye nkusaba; nkusaba ontegekere we ndisula, kubanga nnina essuubi, nga Katonda okusaba kwammwe ajja kukuddamu anzikirize nkomewo gye muli.
24 Ne bakozi bannange bano: Makko, ne Alisutaluuko, ne Dema, ne Lukka nabo babalamusizza.