17 “Ku lunaku olwokubiri munaateekateekanga ente eza sseddume ento kkumi na bbiri, n’endiga ennume ento bbiri n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana abaweza omwaka gumu ogw’obukulu, nga byonna tebiriiko kamogo. 18 Ku nte eza sseddume, n’endiga ento ennume, n’abaana b’endiga abalume, munaateekateekanga ebiweebwayo byabyo eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo byako eby’ebyokunywa, ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 19 Munaagattangako embuzi ennume emu ey’ekiweebwayo olw’ekibi, nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’emmere yaako ey’empeke, n’ebiweebwayo byako ebyokunywa.
20 “Ku lunaku olwokusatu munaateekateekanga ente eza sseddume kkumi n’emu, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana ab’omwaka ogumu ogw’obukulu; nga byonna tebiriiko kamogo. 21 Ku nte ne ku ndiga ento ennume, ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo eby’emmere yaako ey’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ebigenderako, ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 22 Era munaawangayo embuzi emu ennume nga kye kiweebwayo olw’ekibi nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo, n’ekiweebwayo kyako eky’emmere ey’empeke n’ekiweebwayo kyako ekyokunywa.
23 “Ku lunaku olwokuna munaategekanga ente eza sseddume kkumi, n’endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana abawezezza omwaka gumu ogw’obukulu; ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. 24 Ku nte ne ku ndiga ento ennume, n’abaana b’endiga, munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 25 Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo kyako ekyokunywa.
26 “Ku lunaku olwokutaano munaateekateekanga ente eza sseddume mwenda, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana abawezezza omwaka ogumu nga byonna tebiriiko kamogo. 27 Ku nte ne ku ndiga ento ennume, ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 28 Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi nga mwongereza ku kiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa.
29 “Ku lunaku olw’omukaaga munaateekateekanga ente eza sseddume munaana, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana ab’omwaka ogumu ogw’obukulu, ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. 30 Ku nte ne ku ndiga ento ennume, n’abaana b’endiga munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 31 Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke, n’ekiweebwayo kyako ekyokunywa.
32 “Ku lunaku olw’omusanvu munaateekateekanga ente za sseddume musanvu, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana ab’omwaka ogumu ogw’obukulu, ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. 33 Ku nte ne ku ndiga ento ennume, ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo byako ebyokunywa, ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 34 Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo, n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa.
35 “Ku lunaku olw’omunaana munaakubanga olukuŋŋaana, era temuukolenga mirimu gya bulijjo egy’okukakaalukana. 36 Munaawangayo ekiweebwayo ekyokye omuva akaloosa akalungi akasanyusa Mukama Katonda, nga kye kiweebwayo ekyokye eky’ente eya sseddume emu, n’endiga ennume ento emu, n’abaana b’endiga abalume musanvu ab’omwaka ogumu ogw’obukulu, ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. 37 Ku nte ne ku ndiga ento ennume ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo byako ebyokunywa ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 38 Era munaawangayo embuzi emu ennume nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo, n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa.
39 “Ebiweebwayo ebyo munaabiwangayo eri Mukama Katonda ku mbaga entongole ezaategekebwa era ezaalagirwa; nga mubyongera ku biweebwayo bye mweyama, n’ebya kyeyagalire, n’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo eby’emmere y’empeke, n’ebiweebwayo ebyokunywa n’ebiweebwayo olw’emirembe.”
40 Awo Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri buli kimu kyonna nga Mukama Katonda bwe yamulagira Musa.
<- Okubala 28Okubala 30 ->