1 Awo Balamu bwe yalaba nga Mukama Katonda asiimye okuwa Isirayiri omukisa, n’ataddayo kunoonya bya bulaguzi, nga bwe yakola ku mirundi emirala, naye n’ayolekeza amaaso ge eddungu. 2 Balamu n’alengera ewala, n’alaba Isirayiri gye yasiisira ng’ebika bwe byali, n’ajjirwa Omwoyo wa Katonda, 3 n’alagula nti,
“Okulagula kwa Balamu mutabani wa Byoli,
okulagula kw’omuntu azibuddwa amaaso,
4 okulagula kw’oyo awulira ekigambo kya Katonda
alaba okwolesebwa kw’Ayinzabyonna,
eyeeyaze wansi, n’amaaso ge nga gatunula:
5 “Eweema zo nga nnungi, Ayi Yakobo,
ebifo byo mw’obeera, Ayi Isirayiri!
6 “Byeyaliiridde ng’ebiwonvu,
ng’ennimiro ku mabbali g’omugga,
ng’emigavu egisimbiddwa Mukama
ng’emivule egiri okumpi n’amazzi.
7 Amazzi ganaakulukutanga mu bulobo bwabwe; ne gabooga
ensigo zaabwe zirifunanga amazzi mangi.
“Kabaka waabwe aliba wa kitiibwa okukira Agagi
obwakabaka bwabwe bunaagulumizibwanga.
8 “Katonda ye yabaggya mu Misiri
balina amaanyi nga aga sseddume ey’omu nsiko.
Basaanyaawo amawanga g’abalabe
ne bamenyaamenya amagumba gaabwe mu butundutundu,
ne babalasa n’obusaale bwabwe.
9 Ng’empologoma ensajja, beekulula ne bagalamira wansi,
ng’empologoma enkazi; ani ayaŋŋanga okubagolokosa?
“Akusabiranga omukisa aweebwenga omukisa
n’oyo akukolimira akolimirwenga!”
10 Awo obusungu bwa Balaki ne bubuubuukira ku Balamu. N’akuba mu ngalo omulundi gumu, n’amugamba nti, “Nakuyita okolimire abalabe bange, naye obasabidde mukisa emirundi gino gyonsatule. 11 Kale nno situka oddeyo ewammwe! Nagamba nti nnandikuwadde ebitiibwa bingi, naye Mukama akuziyizza okuweebwa ebitiibwa ebyo.”
12 Balamu n’agamba Balaki nti, “Ababaka bo be wantumira, saabagamba nti, 13 ‘Balaki ne bw’alimpa ennyumba ye ng’ejjudde zaabu ne ffeeza, sigenda kusukka kiragiro kya Mukama ne nkola ekyange ku bwange oba nga kirungi oba nga kibi, wabula nga ndyogera ebyo byokka Mukama by’alindagira okwogera?’ 14 Kaakano nno nzirayo ewaffe mu bantu bange, naye wuliriza nga nkulabula abantu bano kye balikola abantu bo mu nnaku ezijja.”