5 “Mmwe munaabanga n’obuvunaanyizibwa obw’emirimu gyonna egy’awatukuvu n’egy’Ekyoto, olwo obusungu buleme kuddamu kubuubuukiranga ku baana ba Isirayiri. 6 Kale weeteegereze: nziridde ab’omu lulyo lwo olw’Abaleevi nga mbalonze mu baana ba Isirayiri, ne mbakukwasa ng’ekirabo ekiweereddwayo eri Mukama Katonda okukolanga emirimu egy’omu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. 7 Naye ggwe ne batabani bo mwekka mmwe munaakolanga emirimu gyonna egy’obwakabona bwammwe egikwata ku kyoto n’egy’omunda w’eggigi. Obuweereza obw’Obwakabona mbubawadde ng’ekirabo. Omuntu yenna omulala anaasemberanga okumpi n’awatukuvu, anaafanga.”
11 “Bino nabyo binaabanga bibyo: ku birabo bye banandeeteranga, n’ebiweebwayo ebiwuubibwawuubibwa eby’abaana ba Isirayiri. Ebyo mbikuwadde ne batabani bo ne bawala bo okuba omugabo gwo ogw’olubeerera. Buli muntu yenna ow’omu maka go omulongoofu anaalyangako.
12 “Nkuwadde ku mafuta ag’omuzeeyituuni agasinga obulungi ne ku wayini omusu, ne ku mmere y’empeke embereberye bye baleetera Mukama eby’amakungula gaabwe. 13 Ebibala ebinaasookanga okwengera mu nnimiro zaabwe, bye banaaleeteranga Mukama Katonda, binaabanga bibyo. Buli muntu yenna ow’omu maka go omulongoofu anaalyangako.
14 “Buli kintu kyonna mu Isirayiri ekiweereddwayo ddala ne kiwongebwa eri Mukama kinaabanga kikyo. 15 Buli ekinaggulangawo enda y’omuntu oba ey’ekisolo, nga kyakuwaayo eri Mukama Katonda, kinaabanga kikyo. Naye omwana omubereberye ow’omuntu onoomununulanga, era n’embereberye ez’ensolo ezitali nnongoofu nazo onoozinunulanga. 16 Ebyo eby’okununula onoobinunulanga bimaze okuweza omwezi gumu ogw’obukulu. Onoobinunuliranga ku muwendo ogwagerekebwa ogwa gulaamu amakumi ataano mu ttaano, ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri.
17 “Naye embereberye ey’ente, oba embereberye ey’endiga oba ey’embuzi, ezo toozinunulenga, kubanga zo ntukuvu. Onoomansiranga omusaayi gwazo ku kyoto, n’oyokya amasavu gaazo mu muliro ng’ekiweebwayo ekyokebwa ekivaamu akawoowo akasanyusa Mukama Katonda. 18 Ennyama yaazo eneebanga yiyo ng’ekiweebwayo ky’ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n’ekisambi ekya ddyo bwe kiri ekikyo. 19 Ebiweebwayo byonna ebitukuvu abaana ba Isirayiri bye banaaleeteranga Mukama, mbikuwadde, ggwe ne batabani bo, ne bawala bo, okubeeranga omugabo gwo ogw’olubeerera. Eneebeeranga endagaano ey’omunnyo eya Mukama wakati we naawe n’ezzadde lyo emirembe gyonna.”
20 Awo Mukama Katonda n’agamba Alooni nti, “Toobenga na byabusika mu nsi yaabwe, so toobenga na mugabo gwonna mu bo; Nze mugabo gwo era Nze busika bwo mu baana ba Isirayiri.
30 “Abaleevi bagambe nti, ‘Bwe munaawangayo ebitundu ebisinga obulungi, binaababalirwangako ng’ebivudde mu gguuliro n’ebivudde mu ssogolero. 31 Mmwe n’ab’omu maka gammwe munaayinzanga okubiriira wonna we munaayagalanga, kubanga eneebeeranga mpeera yammwe olw’omulimu gwe munaakolanga mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. 32 Bwe munaawangayo ebisingira ddala obulungi, tewaabengawo musango gwonna gwe munaabanga muzzizza; bwe mutyo ebiweebwayo ebitukuvu eby’abaana ba Isirayiri munaabanga temubivumisizza, muleme okufa.’ ”
<- Okubala 17Okubala 19 ->- a Abaleevi tebaalina mugabo gwonna mu Isirayiri. Abaleevi baalina ebibuga bitono n’ebifo mwe baalundiranga nga bitono. Kyokka bakabona bo tebaalina kintu. Abaleevi baafunanga empeera yaabwe okuva mu kimu eky’ekkumi ekyaweebwangayo Abayisirayiri (nny. 25-32). Abaleevi baafunanga ne ku ssaddaaka ezaweebwangayo abantu. Era ssaddaaka ezo baaziryanga n’ab’omu maka gaabwe ebweru w’awatukuvu (nny. 11).