5 Awo Sanubalaati n’antumira omuddu we omulundi ogwokutaano n’ebbaluwa etaali nsibe mu mukono gwe, 6 ng’erimu ebigambo bino nti,
8 Ne muweereza obubaka nga ŋŋamba nti, “Tewabanga kigambo bwe kityo ku byoyogedde; ogunja bigunje okuva mu mutima gwo.”
9 Bonna baali bagezaako okututiisatiisa, nga balowooza nti, “Emikono gyabwe girinafuwa omulimu ne gulema okuggwa.” Naye ne nsaba nti, “Ayi Katonda, nyweza emikono gyaffe.”
10 Olunaku olumu ne ŋŋenda mu nnyumba ya Semaaya mutabani wa Deraaya, muzzukulu wa Meketaberi; yali yeesibidde mu nnyumba, n’aŋŋamba nti, “Tusisinkane mu nnyumba ya Katonda, mu yeekaalu munda, tuggalewo enzigi za yeekaalu, kubanga bajja okukutta, ekiro kino bajja kukutta.”
11 Naye ne nziramu nti, “Omusajja nga nze nnyinza okudduka? Kiki ekitwala omusajja afaanana nga nze[a] mu yeekaalu okuwonya obulamu bwange? Sijja kugenda yo.” 12 Ne nkizuula nga Katonda yali tamutumye, naye yali antegeeza ebigambo ebyo kubanga Tobiya ne Sanubalaati baamugulirira. 13 Bamugulirira okuntiisatiisa n’okunkozesa ekyo nnyonoone, balyoke boonoone erinnya lyange nga banjogerako ebigambo ebya swakaba.
17 Ate era mu biro ebyo abakungu ba Yuda baaweerezanga ebbaluwa eri Tobiya. Tobiya n’aziddangamu. 18 Bangi ku bo mu Yuda abaamulayirira, kubanga yali mukoddomi wa Sekaniya mutabani wa Ala, ate nga ne mutabani we Yekokanani yali awasizza muwala wa Mesullamu mutabani wa Berekiya. 19 Baamuwaanawaananga mu maaso gange, n’oluvannyuma ne bamutegeeza bye nayogeranga. Tobiya n’aweerezanga ebbaluwa okuntiisatiisa.
<- Nekkemiya 5Nekkemiya 7 ->- a Abantu abaabulijjo abataali bakabona baali tebakkirizibwa kuyingira mu Watukuvu w’Awatukuvu mu Yeekaalu.