4 Abaatumibwa ne bagenda, ne balaba omwana gw’endogoyi nga guyimiridde ku luguudo, naye nga gusibiddwa ku muguwa wabweru w’ennyumba. Bwe baali bagusumulula, 5 abamu ku bantu abaali bayimiridde awo ne bababuuza nti, “Abange, omwana gw’endogoyi, musumulula gwa ki?” 6 Abayigirizwa ne baddamu nga Yesu bwe yabagamba, ne balyoka babakkiriza okugutwala. 7 Omwana gw’endogoyi ne baguleetera Yesu. Abayigirizwa be ne baddira ebyambalo byabwe ne babyaliira ku mugongo gwayo, Yesu n’agwebagala. 8 Awo abantu bangi abaali mu kibiina ne baaliira engoye zaabwe mu luguudo mwe yali agenda okuyita, abalala ne bamenya amatabi g’emiti mu nnimiro ezaali okumpi, nago ne bagaalira mu luguudo. 9 Abaali mu maaso ge n’abaali emabega we, bonna ne baleekaanira waggulu nti:
11 Awo Yesu n’atuuka mu Yerusaalemi, n’ayingira mu Yeekaalu. N’atunula, ne yeetoolooza amaaso wonna, naye obudde bwali buyise, n’afuluma n’agenda e Besaniya n’abayigirizwa be ekkumi n’ababiri.
18 Bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka bwe baakiwulira, ne batandika okusala amagezi balabe bwe bayinza okumuzikiriza. Baali bamutya engeri ekibiina kyonna bwe kyali kyewuunya okuyigiriza kwe. 19 Obudde bwe bwawungeera Yesu n’abayigirizwa be ne bafuluma mu kibuga.[b]
22 Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Mukkiririze mu Katonda. 23 Ddala ddala mbagamba nti buli aligamba olusozi luno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ n’atabuusabuusa mu mutima gwe, naye n’aba n’okukkiriza, ky’ayogedde kirituukirira. 24 Noolwekyo mbagamba nti buli kye munaasabanga, mukkirize nti mukiweereddwa, era kinaabanga bwe kityo gye muli. 25 Bwe mubanga mugenda okusaba musonyiwenga omuntu yenna gwe mulinako ensonga, ne Kitammwe ali mu ggulu alyoke abasonyiwe ebyonoono byammwe. 26 Naye bwe mutaasonyiwenga, ne Kitammwe ali mu ggulu talibasonyiwa byonoono byammwe.”
29 Naye Yesu n’abaddamu nti, “Bwe munaamala okunziramu ekibuuzo kyange kimu, nange n’ababuulira eyampa obuyinza obwo! 30 Okubatiza kwa Yokaana kwava mu ggulu oba kwava eri bantu? Munziremu!”
31 Ne bakubaganya ebirowoozo bokka na bokka nti, “Bwe tuddamu nti, ‘Kwava mu ggulu,’ ajja kutubuuza nti, ‘Kale, lwaki temwamukkiriza?’ 32 Naye, ate bwe tuddamu nti, ‘Kwava eri bantu.’ ” Baali batya ekibiina ky’abantu. Kubanga buli muntu yalowooza Yokaana okuba nnabbi.
33 Ne baddamu Yesu nti, “Tetumanyi.”
- a Eno y’emu ku Zabbuli ezayimbibwanga okujjukira Embaga ey’Okuyitako
- b Abalambuzi abajjanga ku mikolo egy’enjawulo mu Yerusaalemi, baali beetaaga okugula ebisolo eby’okuwaayo ku mbaga ezo ng’ebiragiro bwe byali ebyabaweebwa mu mateeka. Abasuubuzi baali bafudde oluggya Bannamawanga we baakuŋŋaaniranga mu Yeekaalu akatale, ekyali ekikyamu