8 Ate Setaani n’amutwala ku lusozi oluwanvu n’amulengeza ensi zonna n’obwakabaka bwamu n’ekitiibwa kyabwo kyonna, 9 n’amugamba nti, “Bino byonna nnaabikuwa bw’onoovuunama n’onsinza.”
10 Yesu n’addamu nti, “Vvaawo, genda Setaani. Kyawandiikibwa nti, ‘Osinzanga Mukama Katonda wo yekka, era gw’oweerezanga.’ ”
11 Setaani n’amuviira n’agenda. Bamalayika ne bajja ne bamuweereza.
Yesu Atandika Okubuulira
12 Yesu bwe yawulira nga Yokaana bamusibye mu kkomera n’agenda e Ggaliraaya. 13 Bwe yava e Nazaaleesi n’agenda abeera e Kaperunawumu ekiri ku lubalama lw’ennyanja mu byalo by’e Zebbulooni n’e Nafutaali. 14 Kino ne kituukiriza ekyayogerwa nnabbi Isaaya ng’agamba nti,
15 “Ensi ya Zebbulooni n’ensi ya Nafutaali, okuliraana ennyanja,
17 Okuva mu kiseera ekyo Yesu n’atandika okubuulira nti, “Mwenenye, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.”
Okuyitibwa kw’Abayigirizwa Abaasooka
18 Yesu bwe yali ng’atambula ku lubalama lw’ennyanja y’e Ggaliraaya n’alaba abooluganda babiri: Simooni, gwe bayita Peetero, ne Andereya, nga basuula obutimba bwabwe mu nnyanja, kubanga baali bavubi. 19 Awo Yesu, n’abagamba nti, “Mujje mungoberere, nange ndibafuula abavubi b’abantu.”20 Amangwago ne baleka awo obutimba bwabwe, ne bamugoberera.
21 Bwe yeeyongerayo katono, n’asanga abooluganda abalala babiri: Yakobo, ne Yokaana, nga batudde ne kitaabwe Zebbedaayo mu lyato nga baddaabiriza obutimba bwabwe, nabo n’abayita bamugoberere. 22 Amangwago, ne baleka awo kitaabwe mu lyato ne bagenda naye.
Yesu Awonya Abalwadde
23 Yesu n’abuna wonna mu Ggaliraaya ng’ayigiriza mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya ng’abuulira Enjiri ey’obwakabaka obw’omu ggulu, era ng’awonya buli ndwadde yonna n’obuyongobevu bwonna mu bantu. 24 Amawulire ag’ebyamagero bye yakolanga ne gatuuka mu Siriya yonna. Ne bamuleetera abayongobevu, n’abalina ebibabonyaabonya, n’ab’ensimbu n’abo abaaliko baddayimooni, abakoozimbye n’ab’endwadde endala ezitali zimu, bonna n’abawonya. 25 Ebibiina binene ne bimugoberera, abantu nga bava mu Ggaliraaya ne mu Dekapoli,[a] ne mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya yonna, n’emitala w’omugga Yoludaani.
<- Matayo 3Matayo 5 ->