10 Abayigirizwa be ne bamusemberera ne bamubuuza nti, “Lwaki oyogera nabo mu ngero?”
11 N’abaddamu nti, “Mmwe mulina omukisa kubanga mwaweebwa okutegeera ebyama eby’obwakabaka obw’omu ggulu, naye bo tebaakiweebwa. 12 Kubanga buli alina alyongerwako abeerere ddala na bingi, naye oyo atalina aliggyibwako n’ako akatono k’alina. 13 Kyenva njigiriza mu ngero:
18 “Noolwekyo muwulirize olugero lw’omulimi eyasiga ensigo. 19 Ensigo eyagwa ku mabbali g’ekkubo efaanana ng’omuntu awulira ekigambo kya Katonda n’atakitegeera era omulabe Setaani n’ajja n’akimusikulako okuva ku mutima. 20 Ensigo eyagwa ku byaziyazi efaanana ng’omuntu awulira ekigambo, amangwago n’akyaniriza n’essanyu, 21 naye olw’okuba nga talina mmizi mu ye, wa kaseera buseera, ennaku n’okuyigganyizibwa bwe bijja olw’ekigambo, amangwago n’agwa. 22 N’ensigo eyagwa mu maggwa efaanana ng’omuntu awulira ekigambo naye okweraliikirira kw’ebintu by’ensi n’obugagga obutaliimu ne bibuutikira ekigambo ne kitabala bibala. 23 Naye ensigo eyagwa ku ttaka eddungi efaanana ng’omuntu awulira ekigambo n’akitegeera, n’abalira ddala ebibala, n’abala ebibala amakumi asatu, oba nkaaga oba kikumi.”
24 N’abagerera olugero olulala nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana n’omuntu eyasiga ensigo ennungi mu nnimiro ye, 25 naye ekiro nga yeebase abasajja abalabe ne bajja ne basiga omuddo wakati mu ŋŋaano ye ne bagenda. 26 Naye eŋŋaano ennungi bwe yamera, n’omuddo ne gumerera wamu nayo.
27 “Naye abaddu b’omwami w’ennyumba bwe baamusemberera ne bamugamba nti, ‘Mukama waffe, tewasiga nsigo nnungi mu nnimiro yo? Naye ate omuddo guvudde wa?’
28 “Ye n’abaddamu nti, ‘Omulabe ye yakola ekyo.’ Abaddu kyebaava bamubuuza nti, ‘Tugende tugukoolemu?’
29 “N’abaddamu nti, ‘Nedda, kubanga bwe munaaba mukuulamu omuddo mujja kukuuliramu n’eŋŋaano. 30 Kale mubireke byonna bikulire wamu, okukungula bwe kulituuka ne ndyoka ndagira abakunguzi basooke bakuŋŋaanye omuddo bagusibeko n’oluvannyuma bagwokye, naye yo eŋŋaano bagikuŋŋaanyize mu tterekero lyange.’ ”
33 N’abongerayo olugero olulala nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu buyinza okugeraageranyizibwa n’ekizimbulukusa omukazi kye yakweka mu buwunga bw’eŋŋaano, n’apima ebigero bisatu okutuusa lwe bwazimbulukuka bwonna.”
34 Bino byonna Yesu yabyogerera mu ngero eri ebibiina era teyayogera gye bali awatali ngero. 35 Ekyayogerwa nnabbi ne kiryoka kituukirira nti,
37 N’abannyonnyola ng’agamba nti, “Omwana w’Omuntu ye yasiga ensigo ennungi. 38 Ennimiro y’ensi, n’ensigo ennungi be baana b’obwakabaka, naye omuddo be baana ba Setaani. 39 Omulabe eyasiga ensigo ez’omuddo ye Setaani, amakungula y’enkomerero y’ensi n’abakunguzi be bamalayika.
40 “Noolwekyo ng’omuddo bwe gwakuŋŋaanyizibwa ne gwokebwa mu muliro, bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero y’ensi. 41 Omwana w’Omuntu alituma bamalayika be mu bwakabaka bakuŋŋaanye ebintu byonna ebyesittaza, n’abajeemu, 42 babasuule mu nkoomi y’omuliro. Omwo mwe muliba okukaaba n’okuluma obujiji. 43 Naye abatuukirivu balyakaayakana ng’enjuba mu bwakabaka bwa Kitaabwe. Alina amatu agawulira, awulire.
44 “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana n’ekyobugagga ekyakwekebwa[a]mu nnimiro omuntu omu bwe yakigwikiriza. Olw’essanyu lye yafuna n’agenda n’atunda bye yalina byonna, n’agula ennimiro eyo.
45 “Ate era obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana ng’omusuubuzi w’amayinja ag’omuwendo omungi eyali anoonya amayinja ag’omuwendo, 46 bwe yazuula ejjinja erimu ery’omuwendo n’agenda n’atunda bye yalina byonna n’aligula.
51 Yesu n’ababuuza nti, “Ebintu bino byonna mubitegedde?”
52 Kyeyava abagamba nti, “Noolwekyo omuwandiisi eyayiga obulungi amateeka g’Ekiyudaaya ate n’afuuka omuyigiriza w’obwakabaka obw’omu ggulu, ali ng’omusajja nnyini nnyumba, aggyayo mu tterekero lye ebipya n’ebikadde.”
58 Era yakolerayo ebyamagero bitono olw’obutakkiriza bwabwe.
<- Matayo 12Matayo 14 ->- a Mu biro ebyo eby’obugagga byakwekebwanga mu ttaka, kubanga tewaalingawo bbanka, newaakubadde nga waaliwo abawola ensimbi