9 Abayigirizwa be ne bamubuuza amakulu g’olugero olwo. 10 N’abaddamu nti, “Mmwe muweereddwa omukisa okumanya ebyama by’obwakabaka bwa Katonda, naye abalala, njogera gye bali mu ngero,
11 “Kale, amakulu g’olugero olwo ge gano: Ensigo ky’ekigambo kya Katonda. 12 Ensigo ezaagwa ku mabbali g’ekkubo, be bawulira ekigambo, naye Setaani n’ajja n’akibaggyako mu mutima gwabwe, si kulwa nga bakkiriza ne balokolebwa. 13 Ezaagwa ku lwazi be bawulira ne basanyukira ekigambo, kyokka ne kitaba na mmizi. Be bakkiriza, naye okugezesebwa bwe kujja ne bagwa. 14 Ezaagwa mu maggwa, be bawulira ekigambo, naye okweraliikirira n’obugagga n’amasanyu g’omu bulamu ne bibazisa, ne bataleeta bibala bikuze bulungi. 15 Naye ezaagwa ku ttaka eddungi be bantu abalungi era abeesigwa, era bakuuma ekigambo ku mitima ne babala ebibala n’obugumiikiriza.
16 “Tewali muntu akoleeza ttaala ate nagisaanikirako akalobo oba n’agissa wansi w’ekitanda. Agiwanika waggulu ku kikondo, olwo lw’esobola okumulisiza abantu abayingira. 17 Kubanga tewali kintu na kimu ekyakwekebwa ekitalikwekulwa, era tewali na kimu ekitalimanyibwa mu lwatu. 18 Noolwekyo mwegendereze nga muwuliriza, kubanga oyo alina alyongerwako; naye oyo atalina, n’ekyo ky’alowooza nti alina kigenda kumuggyibwako.”
21 Yesu n’addamu nti, “Mmange ne baganda bange be bano abawulira ekigambo kya Katonda ne bakigondera.”
24 Abayigirizwa ne bamuzuukusa, ne bagamba nti, “Mukama waffe, Mukama waffe, tusaanawo!” N’azuukuka n’aboggolera omuyaga n’amazzi agaali geefuukudde. Ne bikkakkana, ennyanja n’etteeka! 25 N’alyoka abagamba nti, “Okukkiriza kwammwe kuluwa?”
29 Kubanga Yesu yali alagidde omwoyo omubi guve ku musajja oyo. Emirundi mingi yalumbibwanga n’amaanyi mangi, ne bwe baamusibanga n’enjegere, n’akuumibwa mu masamba, yabikutulanga, ddayimooni n’amulaza mu ddungu.
30 Awo Yesu n’abuuza omusajja nti, “Erinnya lyo ggwe ani?”
32 Waaliwo eggana ly’embizzi, awo ku lusozi, nga lirya, baddayimooni ne beegayirira Yesu abasindike mu mbizzi ezo. Yesu n’abakkiriza. 33 Baddayimooni ne bava ku musajja ne bayingira mu mbizzi, amangwago eggana lyonna ne lifubutuka nga liserengeta olusozi, ne lyewanula ku bbangabanga, ne ligwa mu nnyanja, embizzi zonna ne zisaanawo. 34 Abalunzi b’embizzi ezo bwe baakiraba, ne badduka embiro ne bagenda, ne bategeeza ab’omu malundiro ne mu kibuga, ebintu byonna ebibaddewo. 35 Ekibiina ky’abantu ne bagenda okulaba ebibaddewo ne bajja eri Yesu, ne balaba omusajja eyagobwako baddayimooni ng’atudde awo awali ebigere bya Yesu ng’ayambadde engoye era nga mulamu ddala! Ne batya nnyo. 36 Abo abaaliwo okusookera ddala ne bategeeza abalala ng’omusajja eyaliko ddayimooni bwe yawonyezebwa. 37 Awo abantu bonna ab’ensi eyo ey’Abagerasene ne basaba Yesu abaviire, kubanga baali batidde nnyo. N’asaabala mu lyato n’avaayo.
38 Omusajja, eyagobwako baddayimooni n’amusaba agende naye, naye Yesu n’agaana. 39 N’agamba omusajja nti, “Ddayo ewammwe obategeeze Katonda by’akukoledde.” Omusajja n’agenda ng’ategeeza buli gwe yasanganga mu kibuga, Yesu bye yali amukoledde.
45 Yesu n’abuuza nti, “Ani ankutteko?” Bonna ne beegaana, naye Peetero n’agamba nti, “Mukama waffe, ekibiina ky’abantu kinene abakwetoolodde era abantu bangi bakunyigiriza.” 46 Naye Yesu n’addamu nti, “Waliwo ankutteko kubanga mpulidde ng’amaanyi ganvaamu.” 47 Awo omukazi bwe yategeera ng’avumbuddwa, n’ajja ng’akankana n’agwa awo mu maaso ga Yesu, n’annyonnyola mu maaso g’abantu bonna ensonga kyeyavudde amukwatako, era nti n’obulwadde bwe bwawoneddewo!
48 Yesu n’agamba omukazi nti, “Muwala wange, okukkiriza kwo kukuwonyezza. Genda mirembe.” 49 Awo Yesu bwe yali ng’akyayogera omuntu n’atuuka ng’ava mu maka g’omukulu w’ekkuŋŋaaniro, n’agamba Yayiro nti, “Muwala wo afudde! Omuyigiriza toyongera kumuteganya.”
50 Naye Yesu bwe yakiwulira n’amugamba nti, “Totya! Kkiriza bukkiriza, ajja kuba mulamu.”
51 Awo Yesu bwe yatuuka ku nnyumba ya Yayiro, n’atakkiriza bantu balala kuyingira naye mu nju wabula Peetero, ne Yokaana, ne Yakobo, ne kitaawe w’omwana, ne nnyina. 52 Mu kiseera ekyo abantu bonna baali bakaaba nga bakungubagira omwana oyo. Yesu n’abagamba nti, “Mulekeraawo okukaaba! Omuwala tafudde wabula yeebase bwebasi!”
53 Ne bamusekerera nnyo, kubanga bonna baali bamanyi ng’omuwala afudde. 54 Naye Yesu n’akwata omuwala eyali afudde ku mukono, n’akoowoola ng’agamba nti, “Mwana wange, golokoka!” 55 Amangwago n’aba mulamu, n’asituka n’ayimirira. Yesu n’abalagira bamuwe ekyokulya. 56 Bazadde b’omuwala ne beewuunya, naye Yesu n’abakuutira obutabuulirako muntu yenna ebibaddewo.
<- Lukka 7Lukka 9 ->