1 Awo ku lunaku lumu olwa Ssabbiiti, Yesu n’abayigirizwa be bwe baali bayita mu nnimiro y’emmere ey’empeke, abayigirizwa be ne banoga ku birimba by’emmere ey’empeke ne babikunya mu ngalo zaabwe, ne balya. 2 Naye Abafalisaayo abamu ne bagamba nti, “Lwaki mukola ekitakkirizibwa ku Ssabbiiti?”
3 Yesu n’abaddamu nti, “Temusomanga ku Dawudi kye yakola, enjala bwe yamuluma n’abo be yali nabo?4Yayingira mu nnyumba ya Katonda, n’addira emigaati egy’okulaga, n’atoola n’alyako, n’awaako ne be yali nabo ne balya so ng’ekyo kyali tekikkirizibwa muntu yenna okuggyako bakabona.”5 N’abagamba nti, “Omwana w’Omuntu, ye Mukama wa Ssabbiiti.”
Yesu Awonya Omusajja ow’Omukono Ogukaze
6 Ku lunaku lwa Ssabbiiti olulala Yesu yali ng’ayigiriza mu kkuŋŋaaniro nga mulimu n’omusajja eyalina omukono ogukaze. 7 Abannyonnyozi b’amateeka n’Abafalisaayo ne bamusimbako amaaso okulaba obanga anaawonya ku Ssabbiiti, babeeko n’ekintu kye baneekwasa bamuvunaane omusango. 8 Naye Yesu n’ategeera ebirowoozo byabwe. N’agamba omusajja eyalina omukono ogukaze nti, “Situka oyimirire wakati wano.” N’asituka n’ayimirira.
9 Yesu n’alyoka agamba Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka nti, “Muleke mbabuuze; Kirungi okukola ekirungi ku Ssabbiiti oba okukola ekibi? Kirungi okuwonya obulamu oba okubuzikiriza?”
10 N’abeetoolooza amaaso kinnoomu, n’alyoka agamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” Omusajja n’agolola omukono gwe ne guwona. 11 Naye ne bajjula obusungu, ne boogera bokka ne bokka kye banaakola Yesu.
Abatume Ekkumi n’Ababiri
12 Awo olwatuuka mu nnaku ezo, Yesu n’alinnya waggulu ku lusozi okusaba, n’asaba ekiro kyonna eri Katonda. 13 Obudde bwe bwakya, n’ayita abayigirizwa be n’abalondako kkumi n’ababiri, n’abafuula abatume. Amannya gaabwe ge gano:
14 Simooni, gwe yatuuma Peetero, ne Andereya, muganda wa Simooni,
ne Yakobo,
ne Yokaana,
ne Firipo,
ne Battolomaayo,
15 ne Matayo,
ne Tomasi,
ne Yakobo, omwana wa Alufaayo,
ne Simooni, ow’omu kibiina ky’obufuzi eky’Abazerote,[a]
16 ne Yuda, omwana wa Yakobo,
ne Yuda Isukalyoti, oluvannyuma eyamulyamu olukwe.
Yesu Ayigiriza era Awonya
17 Awo Yesu bwe yava ku lusozi awamu nabo, n’ayimirira wansi w’olusozi mu lusenyi awatereevu, ekibiina kinene eky’abayigirizwa be, n’ekibiina kinene eky’abantu abaava mu Buyudaaya yonna ne Yerusaalemi n’ebitundu eby’oku lubalama lw’ennyanja olwa Ttuulo ne Sidoni, 18 ne bajja okumuwuliriza n’okuwonyezebwa endwadde zaabwe. Abo abaali batawaanyizibwa emyoyo emibi ne bawonyezebwa; 19 era abantu bonna ne bafuba okumukwatako, kubanga amaanyi agawonya gaamuvangamu nga gawonya buli muntu.
20 Awo Yesu n’atunuulira abayigirizwa be enkaliriza n’agamba nti,
“Mulina omukisa abaavu,
kubanga obwakabaka bwa Katonda bwammwe.
21Mulina omukisa abalumwa enjala kaakano,
kubanga mulikkusibwa.
Mulina omukisa abakaaba kaakano,
kubanga muliseka.
22Mulina omukisa bwe babakyawa, ne babeewala, ne babavuma,
ne basiiga erinnya lyammwe enziro,
olw’Omwana w’Omuntu.”
23“Musanyukanga ku lunaku olwo ne mujaguza, kubanga empeera yammwe nnene mu ggulu, kubanga ebintu ebyo bajjajjammwe baabikola bannabbi abaabasooka.