3 Setaani n’agamba Yesu nti, “Obanga oli, Mwana wa Katonda, gamba ejjinja lino lifuuke emmere.”
4 Naye Yesu n’amuddamu nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Omuntu taabenga mulamu lwa mmere yokka.’ ”
5 Awo Setaani n’amulinnyisa waggulu, mu kaseera katono n’amulaga obwakabaka bwonna obw’omu nsi. 6 Setaani n’amugamba nti, “Nzija kukuwa obuyinza ku obwo bwonna n’ekitiibwa kyabwo, kubanga bwonna bwa mpeebwa era nnyinza okubuwa omuntu yenna gwe njagala. 7 Bw’onoofukamira n’onsinza byonna ebyo bijja kuba bibyo.”
8 Naye Yesu n’addamu nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Osinzanga Mukama Katonda wo, era gw’oweerezanga yekka.’ ”
9 Ate Setaani n’amutwala mu Yerusaalemi, n’amulinnyisa waggulu ku kasolya ka Yeekaalu awasingira ddala obutumbiivu, n’amugamba nti, “Obanga oli Mwana wa Katonda, buuka weesuule wansi. 10 Kubanga kyawandiikibwa nti,
12 Yesu n’addamu nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Tokemanga Mukama Katonda wo.’ ”
13 Awo Setaani bwe yamaliriza okukema Yesu mu buli ngeri yonna, n’amuviira okutuusa ekiseera ekirala.
16 Bwe yatuuka e Nazaaleesi, ekibuga mwe yakulira, n’agenda mu kkuŋŋaaniro ku Ssabbiiti, nga bwe yali empisa ye. N’ayimuka okusoma. 17 Ne bamuwa ekitabo kya nnabbi Isaaya, n’abikkula omuzingo gw’empapula n’alaba awagamba nti,
20 N’azingako omuzingo n’aguddiza omuweereza, n’atuula. Abantu bonna mu kkuŋŋaaniro ne bamusimba amaaso. 21 N’atandika okubategeeza nti, “Olwa leero, Ebyawandiikibwa bino bye muwulidde bituukiridde!”
22 Bonna abaaliwo ne bamutenda nga beewuunya ebigambo bye ebyekisa ebyava mu kamwa ke, nga bwe beebuuza nti, “Ono si ye mutabani wa Yusufu?”
23 Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala muliyinza n’okuŋŋamba mu lugero luno nti, ‘Omusawo, weewonye,’ nga mugamba nti, ‘Buli kye twawulira mu Kaperunawumu, kikolere na wano mu kyalo kyo.’ ”
24 Naye n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Tewali nnabbi ayanirizibwa mu kyalo ky’ewaabwe! 25 Naye mazima mbagamba nti, waaliwo bannamwandu bangi mu biseera bya nnabbi Eriya, mu Isirayiri enkuba bwe yamala emyaka esatu n’ekitundu nga tetonnya, n’enjala n’egwa mu nsi yonna. 26 Naye nnabbi Eriya teyatumibwa eri omu ku bannamwandu abo, wabula yatumibwa eri nnamwandu ow’e Zalefaasi mu Sidoni. 27 Ne mu biseera bya nnabbi Erisa waaliwo abagenge[a]bangi mu Isirayiri, naye tewali n’omu ku bo eyalongoosebwa okuggyako Naamani Omusuuli.”
28 Bonna abaali mu kuŋŋaaniro ne bakwatibwa obusungu olw’ebigambo ebyo, 29 ne basituka, ne bamusindiikiriza okumutuusa ebweru w’ekibuga ku bbangabanga ly’olusozi ekibuga kyabwe kwe kyazimbibwa, bamusindike agwe eri wansi. 30 Naye n’abayitamu wakati ne yeetambulira.
33 Mu kkuŋŋaaniro, mwalimu omusajja eyaliko ddayimooni n’atandika okuwowoggana nti, 34 “Woowe! Otulanga ki, ggwe Yesu ow’e Nazaaleesi? Ozze kutuzikiriza? Nze nkumanyi, ggwe mutukuvu wa Katonda.”
35 Yesu n’amuboggolera ng’agamba nti, “Sirika! Muveeko!” Awo dayimooni n’asuula eri omusajja wansi wakati mu bantu, n’amuvaako nga tamulumizza.
36 Buli muntu n’atya nnyo nga bwe beebuuzaganya nti, “Kigambo ki kino? Kubanga alagira n’obuyinza n’amaanyi emyoyo emibi ne giva mu muntu, ekireetera ne dayimooni okumugondera.” 37 Amawulire agakwata ku Yesu ne gabuna mu kitundu ekyo kyonna ekyetoolodde awo.
40 Obudde bwe bwali buwungeera, abantu bonna abaalina abalwadde ab’endwadde eza buli ngeri, ne babaleeta eri Yesu, n’abassaako emikono buli omu n’amuwonya. 41 Abamu baaliko baddayimooni, Yesu n’abalagira ne bava ku balwadde nga bwe baleekaana nti, “Ggwe Mwana wa Katonda.” Naye kubanga baamumanya nga ye Kristo, n’atabaganya kukyogerako.
42 Bwe bwakya Yesu n’alaga mu kifo etali bantu. Ekibiina ky’abantu ne bamunoonya, okutuusa lwe baamulaba ne balaga gy’ali ne bamwegayirira aleme kubavaako. 43 Naye n’abaddamu nti, “Kinsaanira okubuulira Enjiri y’obwakabaka bwa Katonda ne mu bifo ebirala kubanga eyo y’ensonga kyenava ntumibwa.” 44 Yesu ne yeeyongera okubuulira mu makuŋŋaaniro gaabwe mu Buyudaaya.
<- Lukka 3Lukka 5 ->- a kiyinza okuba endwadde endala ez’olususu