5 Awo abatume ne bagamba Mukama waffe nti, “Twongereko okukkiriza.”
6 Mukama waffe n’abagamba nti, “Singa okukkiriza kwammwe kuba ng’akaweke ka kaladaali, mwandigambye omukenene guno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ era ne gubagondera.
7 “Naye ani ku mmwe, ng’omuddu we yaakakomawo okuva okulima oba okulunda endiga, amugamba nti, ‘Jjangu mangu otuule ku mmere?’ 8 Tamugamba nti, ‘Teekateeka emmere yange, weerongoose olabike bulungi, olyoke ompeereze nga ndya era nga nnywa, bwe nnaamala naawe n’onywa era n’olya emmere yo?’ 9 Mulowooza nti Mukama w’omuweereza oyo amwebaza olw’okugondera bye yalagirwa okukola? 10 Nammwe bwe mutyo bwe mumalanga okutuukiriza ebyo ebyabagambibwa okukola, mugambenga nti, ‘Ffe abaddu bo abatasaanira tukoze omulimu gwaffe ogutugwanidde.’ ”
14 Yesu bwe yabalaba n’abagamba nti, “Mugende mweyanjule eri bakabona.” Bwe baali nga bagenda ne bawona ne baba balongoofu.
15 Omu ku bo bwe yalaba ng’awonye n’akomawo eri Yesu nga bw’aleekaanira waggulu ng’atendereza Katonda. 16 N’agwa wansi ku bigere bya Yesu ng’amwebaza. Omusajja oyo yali Musamaliya.
17 Yesu n’agamba nti, “Ekkumi bonna tebaawonyezebbwa? Omwenda bo baluwa? 18 Tebayinzizza kudda kutendereza Katonda wabula munnaggwanga ono yekka y’akomyewo?” 19 Awo Yesu n’amugamba nti, “Situka weetambulire, okukkiriza kwo kukuwonyezza.”
22 Oluvannyuma n’agamba abayigirizwa be nti, “Ekiseera kijja lwe mulyegomba okulaba olumu, ku nnaku z’Omwana w’Omuntu, naye temulirulaba. 23 Balibagamba nti lwe luno era nti lwe luli temugendanga era temubagobereranga. 24 Kubanga ng’eggulu bwe limyansiza ku ludda olumu olw’eggulu ate ne limyansiza ku ludda olulala olw’eggulu, bw’atyo bw’aliba Omwana w’Omuntu ku lunaku lwe, 25 Naye okusooka kimugwanira okubonaabona mu bintu bingi, n’okugaanibwa, abantu ab’omulembe guno.
26 “Nga bwe kyali mu biseera bya Nuuwa, era bwe kityo bwe kiriba ne mu biseera by’Omwana w’Omuntu. 27 Abantu baali balya nga banywa nga bawasa era nga bafumbirwa okutuusa ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato. Olwo amataba ne gajja ne gasaanyaawo buli kintu.
28 “Era kiriba nga bwe kyali mu nnaku za Lutti. Abantu baali balya nga banywa, nga bagula era nga batunda, nga balima era nga bazimba amayumba, 29 okutuusa ku lunaku Lutti lwe yava mu Sodomu. Olwo omuliro n’olunyata ne biyiika okuva mu ggulu ne bizikiriza buli kimu.
30 “Bwe bityo bwe biriba ku lunaku, Omwana w’Omuntu lw’alirabikirako. 31 Ku lunaku olwo omuntu yenna aliba waggulu ku nju, takkanga mu nju munda kuggyamu bintu bye. N’abo abaliba mu nnimiro tebaddangayo eka okubaako ne bye banonayo. 32 Mujjukire mukazi wa Lutti! 33 Buli anoonya okuwonya obulamu bwe alibufiirwa, naye buli eyeefiiriza obulamu bwe alibuwonya. 34 Mbagamba nti ku lunaku olwo abantu babiri baliba ku kitanda kimu, Omu alitwalibwa naye munne n’alekebwa. 35 Abantu babiri baliba basa ku lubengo, omu alitwalibwa naye munne alirekebwa. 36 Abasajja babiri baliba mu nnimiro, omu alitwalibwa naye munne alirekebwa.”
37 Awo abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Mukama waffe, nga batwalibwa wa?”
- a Empungu mu Luyonaani, naye e Buganda okusinga tulina nsega