Link to home pageLanguagesLink to all Bible versions on this site
3
Etteeka ery’Ekiweebwayo olw’Emirembe
1 “ ‘Omuntu bw’anaaleetanga ekiweebwayo olw’emirembe eri Mukama, ekiweebwayo ekyo nga kya nte nnume oba nkazi gy’aggye mu kiraalo kye, ente eyo tebeerengako kamogo. 2 Omuntu aleese ekiweebwayo ekyo anaakwatanga omutwe gwakyo n’akittira ku mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu; batabani ba Alooni, bakabona, ne balyoka bamansira omusaayi ku kyoto okukyebungulula. 3 Omu ku bakabona anaggyanga ebintu bino mu kiweebwayo olw’emirembe ekireeteddwa nga kyokeddwa mu muliro, nga kye kiweebwayo eri Mukama; anaawangayo amasavu agabikka ku byenda, n’amasavu gonna agali okumpi n’ebyenda, 4 n’ensigo zombi awamu n’amasavu agaziriko okuliraana ekiwato, n’ekibikka ku kibumba nga biggyibwako wamu n’ensigo. 5 Kale batabani ba Alooni banaabyokeranga kungulu ku kiweebwayo ekyokebwa ekiri ku nku eziri ku muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.

6 “ ‘Omuntu anaggyanga mu kisibo kye ekisolo ekisajja oba ekikazi nga tekiriiko kamogo, n’akiwaayo eri Mukama. 7 Bw’anaaleetanga endiga ento nga kye kiweebwayo kye eri Mukama, 8 anaagikwatanga omutwe gwayo, n’agittira mu maaso ga Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Kale batabani ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto n’okukyebunguluza. 9 Mu kiweebwayo olw’emirembe ky’anaaleetanga okuwaayo ng’ekiweebwayo eri Mukama nga kyokebwa mu muliro, anaggyangamu bino n’abiwaayo eri Mukama: anaawangayo amasavu n’omukira gwonna n’amasavu gaagwo, nga gusaliddwako okumpi n’omugongo, n’amasavu agabikka ku byenda, n’amasavu gonna agali okumpi n’ebyenda, 10 n’ensigo zombi awamu n’amasavu agaziriko okuliraana ekiwato, n’ekibikka ku kibumba, nga biggyibwako wamu n’ensigo. 11 Awo kabona anaabyokeranga ku kyoto okubeera ekyokulya ekiweebwayo eri Mukama nga kyokeddwa mu muliro.

12 “ ‘Ekiweebwayo kye bwe kinaabanga embuzi, anaagiwangayo ng’ekiweebwayo eri Mukama; 13 anaagikwatanga omutwe gwayo, n’agittira mu maaso ga Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Kale batabani ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto n’okukyebunguluza. 14 Awo anaawangayo ekiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro ng’akiggya okwo: amasavu agabikka ebyenda, n’amasavu gonna agaliraanye ebyenda, 15 n’ensigo zombi n’amasavu agaziriko okuliraana ekiwato, n’ekibikka ku kibumba nga biggyibwako wamu n’ensigo. 16 Awo kabona anaabyokeranga ku kyoto okubeera ekyokulya ekiweebwayo nga kyokebwa mu muliro okuvaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. Amasavu gonna ganaabanga ga Mukama.

17 “ ‘Ekintu kino kinaabeeranga etteeka ery’ebiro byonna okuyita mu mirembe eginaagendanga giddiriragana mu bifo byonna gye munaabeeranga. Temulyanga masavu wadde omusaayi.’ ”

<- Ebyabaleevi 2Ebyabaleevi 4 ->