Link to home pageLanguagesLink to all Bible versions on this site
2
1 Obusungu bwa Mukama nga bubuubuukidde ku Muwala wa Sayuuni
ne bumussa wansi w’ekire!
Ekitiibwa kya Isirayiri, Mukama akissizza wansi
okuva mu ggulu okutuuka ku nsi;
ne yeerabira entebe ey’ebigere bye
ku lunaku lwe yasunguwalirako.
 
2 Mukama azikirizza
abatuula mu Yakobo bonna awatali kubasaasira;
mu busungu bwe amenye
ebigo eby’amaanyi eby’omuwala wa Yuda;
assizza wansi obwakabaka bwe n’abakungu be
n’abamalamu ekitiibwa.
 
3 Mu busungu obungi
amaanyi gonna aga Isirayiri agakendeezezza;
bw’alabye omulabe ng’asembera,
n’aggyawo omukono gwe ogwa ddyo;
anyiigidde Yakobo okufaanana ng’omuliro
bwe gubumbujja ne gwokya buli ekiguliraanye.
 
4 Anaanudde omutego gwe okufaanana nga ogw’omulabe,
era omukono gwe ogwa ddyo mweteefuteefu.
Azikirizza ebyo byonna ebisanyusa amaaso
mu weema ey’omuwala wa Sayuuni,
okufaanana ng’omulabe bwe yandikoze;
obusungu bwe bubuubuuka ng’omuliro.
 
5 Mukama afuuse ng’omulabe;
azikirizza Isirayiri,
n’azikiriza embiri ze,
n’azikiriza n’ebifo bye eby’amaanyi.
Aleetedde muwala wa Yuda
okweyongera okukaaba n’okukungubaga.
 
6 Asaanyizzaawo eweema ye n’efaanana ng’ennimiro,
era azikirizza n’ekifo kye eky’Okukuŋŋaanirangamu.
Mukama yeerabizza Sayuuni
embaga ze entukuvu ne ssabbiiti,
era mu busungu bwe obungi
anyoomye kabaka ne kabona.
 
7 Mukama atamiddwa ekyoto kye,
n’alekulira n’ekifo kye ekitukuvu.
Awaddeyo bbugwe w’embiri ze eri omulabe;
era baleekaanidde mu nnyumba ya Mukama,
ne baleetamu oluyoogaano
nga ku lunaku olw’embaga entukuvu.
 
8 Mukama yamalirira okumenya
bbugwe eyeetoolodde muwala wa Sayuuni,
n’agolola omuguwa ogupima,
Omukono gwe ne guteewala kuzikiriza.
Yaleetera enkomera ne bbugwe okukungubaga,
byonna ne biggweerera.
 
9 Emiryango gye gisse mu ttaka,
n’emitayimbwa gyagyo agimenye n’agyonoona.
Kabaka we n’abakungu be baawaŋŋangusizibwa,
eteri mateeka gaabwe agabafuga,
era ne bannabbi be tebakyafuna
kwolesebwa kuva eri Mukama.
 
10 Abakadde b’Omuwala wa Sayuuni
batuula wansi ku ttaka nga basiriikiridde;
bayiye enfuufu ku mitwe gyabwe
era beesibye ebibukutu;
n’abawala ba Yerusaalemi
bakotese emitwe gyabwe.
 
11 Amaaso gange gakooye olw’okukaaba
n’emmeeme yange enyiikadde
n’omutima gwange gulumwa
olw’okuzikirizibwa kw’abantu bange,
n’olw’abaana abato n’abaana abawere okuzirikira
wakati mu nguudo ez’omu kibuga.
 
12 Bakaabirira bannyaabwe nga bwe boogera nti,
“Omugaati n’envinnyo biri ludda wa?”
nga bwe bazirika okufaanana ng’abaliko ebiwundu
mu nguudo ez’ekibuga,
nga bwe bakaabira
mu bifuba bya bannyaabwe.
 
13 Nnyinza kugamba ki,
era kiki kye nnyinza okukugeraageranyaako
ggwe Omuwala wa Yerusaalemi?
Kiki kye nnyinza okukufaananya,
okukusanyusa ggwe
Omuwala Embeerera owa Sayuuni?
Ekiwundu kyo kinene nnyo,
kale ani ayinza okukiwonya?
 
14 Okwolesebwa bannabbi bo kwe baafuna,
kwali kwa bulimba era kwa butaliimu;
tebaakutegeeza obutali butuukirivu bwo
okukuwonya obusibe.
Engero ze baabanyumizanga
zaali za bulimba era eziwabya.
 
15 Bonna abayitawo
babakubira mu ngalo
ne bafuuwa empa ne banyeenyeza
omuwala wa Yerusaalemi emitwe gyabwe nga boogera nti,
“Kino kye kibuga ekyayitibwanga
ekituukiridde,
era essanyu ly’ensi zonna?”
 
16 Abalabe bo bonna
baasaamiridde nga beewuunya;
nga bafuuwa empa, era baluma amannyo
nga boogera nti, “Tumuzikirizza.
Luno lwe lunaku lwe twalindirira,
kaakano lutuukiridde, era tululabye.”
 
17 Mukama akoze kye yateekateeka,
era atuukirizza ekigambo kye
kye yalagira mu nnaku ez’edda.
Akuzikirizza awatali kukusaasira,
aleetedde omulabe wo okukusekerera,
n’amaanyi g’abalabe bo agagulumizza.
 
18 Kaabirira Mukama
n’eddoboozi ery’omwanguka
ggwe Omuwala wa Sayuuni.
Leka amaziga go gakulukute ng’omugga
emisana n’ekiro.
Teweewummuza so toganya
maaso go kuwummula.
 
19 Golokoka, okaabe ekiro
obudde nga bwa kaziba;
Fuka emmeeme yo ng’amazzi
mu maaso ga Mukama.
Yimusa emikono gyo gy’ali,
olw’obulamu bw’abaana bo abato
abazirise olw’enjala
mu buli luguudo.
 
20 “Tunula, Ayi Mukama Katonda osaasire!
Ani gwe wali obonerezza bw’otyo?
Ddala, abakyala balye ebibala by’embuto zaabwe,
abaana be bakuzizza?
Ddala, bakabona ne bannabbi battibwe
mu watukuvu wa Mukama?
 
21 “Abato n’abakulu bonna bafiiridde wamu
mu nfuufu ey’enguudo;
abavubuka bange ne bawala bange
battiddwa n’ekitala;
obattidde ku lunaku olw’obusungu bwo,
era obasse awatali kusaasira.
 
22 “Nga bw’oyita abantu ku lunaku olw’embaga,
bw’otyo bw’ompitidde ebikemo ku njuyi zonna;
era ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama,
tewali n’omu eyasimattuka newaakubadde eyasigalawo;
abo be nalabirira ne nkuza,
omulabe wange be yazikiriza.”

<- Okukungubaga 1Okukungubaga 3 ->