5 Yesu bwe yayimusa amaaso n’alaba ekibiina ky’abantu ekinene, nga bajja gy’ali, n’agamba Firipo nti, “Tunaagula wa emmere okuliisa abantu abo bonna?” 6 Yayogera atyo kugezesa Firipo, kubanga Yesu yali amanyi ky’agenda okukola.
7 Firipo n’amuddamu nti, “Emmere egula eddinaali ebikumi ebibiri teesobole na kubabuna, buli omu okulyako akatono.”
8 Awo omu ku bayigirizwa be, Andereya muganda wa Simooni Peetero, n’amugamba nti, 9 “Wano waliwo omulenzi alina emigaati etaano egya sayiri, n’ebyennyanja bibiri. Naye bino binaagasa ki abantu abangi bwe bati?”
10 Yesu n’abagamba nti, “Mutuuze abantu.” Waaliwo omuddo mungi mu kifo ekyo. Awo abantu ne batuula, ne baba abasajja ng’enkumi ttaano. 11 Awo Yesu n’atoola emigaati ne yeebaza Katonda, n’agabula abantu abatudde. N’ebyennyanja n’akola bw’atyo. Bonna ne balya ne bakkuta.
12 Oluvannyuma Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Kale mukuŋŋaanye obutundutundu obusigaddewo tuleme kufiirwa.” 13 Ne babukuŋŋaanya, ne bajjuza ebisero kkumi na bibiri eby’obutundutundu obwava mu migaati etaano egya sayiri, obwasigalawo nga bamaze okulya.
14 Abantu bwe baalaba ekyamagero Yesu kye yakola ne bagamba nti, “Ddala ono ye Nnabbi oli alindirirwa okujja mu nsi!” 15 Yesu bwe yategeera nti bategeka okumukwata bamufuule kabaka waabwe n’addayo yekka ku lusozi.
25 Bwe baamulaba emitala w’ennyanja ne bamubuuza nti, “Labbi, watuuse ddi wano?”
26 Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti munnoonya si lwa kubanga mwalaba obubonero, naye lwa kubanga mwalya emigaati ne mukkuta. 27 Temukolerera mmere eggwaawo, wabula munoonye emmere ebeerera era etuusa mu bulamu obutaggwaawo, Omwana w’Omuntu gy’alibawa, kubanga Kitaawe w’Omwana amussizaako akabonero.”
28 Awo ne bamubuuza nti, “Tukole ki okutuukiriza ekyo Katonda ky’ayagala?”
29 Yesu n’abaddamu nti, “Katonda ky’ayagala mukole kwe kukkiriza oyo gwe yatuma.”
30 Ne bamugamba nti, “Kale kabonero ki ggwe k’okola, tulabe tukukkirize? Onookola kabonero ki? 31 Bajjajjaffe baalya emmaanu mu ddungu nga bwe kyawandiikibwa nti, ‘Yabawa emmere okuva mu ggulu balye.’ ”
32 Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Musa si ye yabawa emmere eva mu ggulu, wabula Kitange ye yabawa emmere ey’amazima eva mu ggulu. 33 Emmere ya Katonda ye eva mu ggulu, era ye awa ensi obulamu.”
34 Ne bamugamba nti, “Mukama waffe, tuwenga emmere eyo buli lunaku.”
35 Yesu n’abaddamu nti, “Nze mmere ey’obulamu. Ajja gye ndi enjala teriddayo kumuluma, era abo abanzikiriza tebaliddayo kulumwa nnyonta. 36 Naye nabagamba nti mundabye naye era ne mutanzikiriza. 37 Buli muntu Kitange gw’ampa alijja gye ndi, era buli ajja gye ndi sirimugobera bweru. 38 Kubanga ekyanzigya mu ggulu kwe kukola ekyo Katonda eyantuma ky’ayagala, so si Nze bye njagala ku bwange. 39 Eyantuma ky’ayagala kye kino: Ku abo be yampa nneme kubulwako n’omu wabula bonna mbazuukize ku lunaku olw’enkomerero. 40 Kubanga Kitange ky’ayagala kye kino nti buli alaba Omwana we n’amukkiriza afuna obulamu obutaggwaawo ku lunaku olw’enkomerero.”
43 Yesu n’abagamba nti, “Temwemulugunya. 44 Tewali ayinza kujja gye ndi wabula nga Kitange eyantuma amuyise, era Nze ndimuzuukiza ku lunaku olw’enkomerero. 45 Kubanga kyawandiikibwa mu bannabbi nti, ‘Bonna baliyigirizibwa Katonda.’ Era buli gw’ayigiriza n’ategeera amazima ajja gye ndi. 46 Si kuba nti waliwo eyali alabye ku Kitange, wabula oyo eyava eri Katonda, ye yalaba Kitaawe. 47 Ddala ddala mbagamba nti, Akkiriza aba n’obulamu obutaggwaawo! 48 Nze mmere ey’obulamu. 49 Bajjajjammwe baalya emaanu mu ddungu ne bafa. 50 Eno y’emmere eyava mu ggulu, buli agiryako aleme okufa. 51 Nze mmere ennamu eyava mu ggulu omuntu bw’alya ku mmere eno aliba mulamu emirembe n’emirembe. Emmere gye ndigaba okuleetera ensi obulamu, gwe mubiri gwange.”
52 Awo Abayudaaya ne batandika okuwakana bokka na bokka nga bagamba nti, “Ono ayinza atya okutuwa omubiri gwe okugulya?”
53 Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti bwe mutalya mubiri gwa Mwana wa Muntu, ne munywa n’omusaayi gwe, temuyinza kuba na bulamu mu mmwe. 54 Buli alya omubiri gwange n’anywa n’omusaayi gwange, ng’afunye obulamu obutaggwaawo era ndimuzuukiza ku lunaku olw’enkomerero. 55 Kubanga omubiri gwange kye kyokulya ddala n’omusaayi gwange kye kyokunywa ddala. 56 Oyo alya ku mubiri gwange era n’anywa omusaayi gwange abeera mu nze, era nange mbeera mu ye. 57 Nga Kitange eyantuma bw’ali omulamu, nange bwe ndi omulamu ku bwa Kitange, noolwekyo oyo alya ku nze naye aliba mulamu ku bwange. 58 Eno ye mmere eva mu ggulu. Teri ng’eyo bajjajjammwe gye baalya ne bafa. Alya emmere eno anaabanga mulamu emirembe n’emirembe.” 59 Ebyo Yesu yabyogera ng’ayigiriza mu kkuŋŋaaniro e Kaperunawumu.
66 Okuva olwo bangi ku bayigirizwa be ne bamuvaako ne bataddayo kuyita naye.
67 Awo Yesu n’akyukira abayigirizwa be ekkumi n’ababiri n’ababuuza nti, “Nammwe mwagala kugenda?”
68 Simooni Peetero n’amuddamu nti, “Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Ggwe wekka gw’olina ebigambo by’obulamu obutaggwaawo. 69 Ffe tubikkiriza era tumanyi nti oli Mutukuvu wa Katonda.”
70 Awo Yesu kwe kubagamba nti, “Mmwe ekkumi n’ababiri si nze nabalonda? Naye omu ku mmwe Setaani!” 71 Yesu yayogera ku Yuda, mutabani wa Simooni Isukalyoti, kubanga ye yali agenda okumulyamu olukwe.
<- Yokaana 5Yokaana 7 ->