4 Naye Yuda Isukalyoti, omu ku bayigirizwa ba Yesu, eyali ow’okumulyamu olukwe, n’agamba nti, 5 “Lwaki amafuta ago tegatundiddwamu eddinaali ebikumi bisatu ne zigabirwa abaavu?” 6 Yayogera bw’atyo si lwa kuba nti yali alumirwa nnyo abaavu, wabula Lwa kubanga yali mubbi. Yatwalanga ensimbi ezaaterekebwanga mu nsawo y’ensimbi.
7 Yesu n’alyoka abagamba nti, “Omukazi mumuleke, akoze ekyo lwa kunteekerateekera kuziikibwa kwange. 8 Abaavu muli nabo bulijjo, naye Nze sijja kuba nammwe bulijjo.”
16 Ebyo abayigirizwa tebaabitegeererawo, naye Yesu bwe yamala okugulumizibwa, ne balyoka bajjukira ebintu ebyo ebyali bimuwandiikiddwako, ne bye baamukola.
17 Abo abaali mu kibiina, abaalaba Yesu ng’azuukiza Laazaalo ne baategeeza ebyaliwo ne bwe yazuukiza Laazaalo. 18 Abantu abangi bwe batyo kyebaava bagenda okusisinkana Yesu, kubanga baali bawulidde ekyamagero ekyo kye yakola. 19 Awo Abafalisaayo ne bagambagana nti: “Mulabye bwe tutalina kye tufunyeemu! Laba ensi yonna emugoberedde.”
23 Yesu n’abaddamu nti, “Ekiseera kituuse Omwana w’Omuntu agulumizibwe. 24 Ddala ddala mbagamba nti empeke y’eŋŋaano bw’egwa mu ttaka efa, bwe tefa ebeera yokka, naye bw’efa ebala ebibala bingi. 25 Buli eyeemalira ku bulamu bwe alibufiirwa, naye oyo akyawa obulamu bwe mu nsi eno, alibusigaza mu bulamu obutaggwaawo. 26 Oyo ampeereza, angoberere. Nze w’endi n’omuweereza wange w’anaabeeranga era Kitange alimuwa ekitiibwa oyo ampeereza.”
34 Awo abantu mu kibiina ekyo ne bamugamba nti, “Ffe tumanyi okuva mu mateeka nti Kristo aba mulamu emirembe gyonna. Naye ggwe lwaki ogamba nti Omwana w’Omuntu kimugwanira okufa? Mwana wa Muntu ki oyo gw’oyogerako?” 35 Yesu n’abaddamu nti, “Omusana gujja kwongera okubaakira okumala akaseera. Kale mugutambuliremu mugende gye mwagala ng’ekizikiza tekinnatuuka. Atambulira mu kizikiza tamanya gy’alaga. 36 Kale Omusana nga bwe gukyayaka mugutambuliremu mulyoke mufuuke abaana b’omusana.” Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’agenda n’abeekweka.
37 Kyokka newaakubadde Yesu yakola ebyamagero bingi, tebaamukkiriza. 38 Ekigambo kya nnabbi Isaaya kituukirire ekigamba nti,
39 Kyebaava batakkiriza kubanga nnabbi Isaaya yayongera n’agamba nti,
42 Era waaliwo bangi ne mu bakulembeze b’Abayudaaya abaamukkiriza. Naye olw’okutya Abafalisaayo, tebaamwatula, baleme kugobebwa mu kkuŋŋaaniro. 43 Kubanga baayagala ekitiibwa ekibaweebwa abantu okusinga ekitiibwa kya Katonda.
44 Awo Yesu n’asitula ku ddoboozi n’agamba nti, “Buli anzikiriza aba takkiriza Nze nzekka, wabula aba akkirizza n’oyo eyantuma. 45 N’oyo alaba Nze aba alabye oli eyantuma. 46 Nze omusana nzize mu nsi buli anzikiriza aleme okusigala mu kizikiza.
47 “Awulira ebigambo byange n’atabifaako, Nze simusalira musango, kubanga Nze najja kulokola nsi so si kugisalira musango. 48 Kyokka buli agaana Nze era n’agaana n’ebigambo byange, alina amusalira omusango. Alisalirwa omusango ku lunaku olw’enkomerero okusinziira ku bigambo bye namutegeeza. 49 Kubanga Nze bye njogera si byange, ku bwange, naye mbategeezezza ebya Kitange bye yandagira okubategeeza. 50 Era mmanyi nti by’alagira bwe bulamu obutaggwaawo. Noolwekyo ky’aŋŋamba kye mbategeeza.”
<- Yokaana 11Yokaana 13 ->