‘Siribatunuuliza busungu kubanga ndi waakisa,’ bw’ayogera Mukama;
‘Sirisiba busungu ku mwoyo emirembe gyonna.
13 Mukkirize bukkiriza ekibi kyammwe,
mwajeemera Mukama Katonda wammwe,
mwasinza bakatonda abalala,
wansi wa buli muti oguyimiridde,
era ne mutaŋŋondera,’ ”
bw’ayogera Mukama.
14 “Mukomeewo mmwe abaana abanvaako,” bw’ayogera Mukama; “kubanga nze bbammwe, era ndibalondamu omu ku omu okuva mu buli kibuga, babiri babiri okuva mu buli kika mbaleete ku lusozi Sayuuni. 15 Era ndibawa abasumba abakola ng’omutima gwange bwe gwagala, abalibakulembera mu kumanya era ne mu kutegeera. 16 Ennaku bwe zirituuka nga mwaze era nga muli bangi nnyo mu nsi,” bw’ayogera Mukama, “abantu baliba tebakyayogera ku Ssanduuko y’Endagaano. Baliba tebakyagirowooza nako, okugijjukira; oba okulumwa emitima olw’obutaba nayo wadde okukola endala. 17 Ebbanga lyonna Yerusaalemi kiriyitibwa Entebe ya Mukama ey’Obwakabaka, amawanga gonna mwe ganaakuŋŋaaniranga okumugulumiza Mukama mu Yerusaalemi era tebaliddayo kugoberera mitima gyabwe minyoomi. 18 Mu nnaku ezo ennyumba ya Yuda eryegatta ku nnyumba ya Isirayiri, era bombi awamu baliva mu nsi ey’omu bukiikakkono ne bajja mu nsi gye ndiwa bakitammwe okuba omugabo.
19 “Nze kennyini nalowooza
“nga nayagala okubayisanga nga batabani bange,
era mbawe ensi eyeegombebwa,
nga gwe mugabo ogusinga obulungi mu mawanga gonna.
Nalowooza nti mulimpita ‘Kitammwe,’
ne mutanvaako ne mwongera okungoberera.
20 Naye ng’omukazi atali mwesigwa eri bba bw’abeera,