1 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Serengeta ogende mu lubiri lwa kabaka wa Yuda 2 olangirire obubaka buno nti, Wulira ekigambo kya Katonda ggwe kabaka wa Yuda, ggw’atuula ku ntebe ya Dawudi, mmwe abakungu n’abantu bammwe abayita mu miryango gino. 3 Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Musale emisango egy’ensonga, mukole ebituufu. Anyagiddwako ebibye mumuggye mu mukono gw’oyo amujooga. Temukola kibi oba eby’obukambwe eri omugwira, newaakubadde atalina kitaawe, newaakubadde nnamwandu so temuyiwa musaayi gw’abantu abataliiko musango mu kifo kino. 4 Kubanga bwe muneegendereza ne mukuuma ebiragiro bino, olwo bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi baliyita mu miryango gy’olubiri luno nga batudde mu magaali gaabwe n’abo abeebagadde embalaasi nga bawerekerwako n’abakungu baabwe, n’abantu baabwe. 5 ‘Naye bwe mutaagondere biragiro bino, nneelayirira ku lwange nti olubiri luno lulifuuka matongo,’ bw’ayogera Mukama.”
6 Kubanga kino Mukama ky’agamba ku lubiri lwa kabaka wa Yuda nti,
“Newaakubadde ng’oli nga Gireyaadi gye ndi,
ng’entikko y’olusozi Lebanooni,
ddala ddala nzija kukufuula ddungu,
ng’ebibuga ebitaliimu bantu.
7 Ndikusindikira abakuzikiriza,
buli musajja n’ebyokulwanyisa bye,
era balitema emivule gyo egisinga obulungi
ne bagisuula mu muliro.
8 “Abantu abava mu mawanga amangi baliyita ku kibuga kino nga beebuuzaganya bokka ne bokka nti, ‘Lwaki Mukama yakola ekintu ekifaanana bwe kiti ku kibuga kino ekikulu bwe kiti?’ 9 Era eky’okuddamu kibeere nti, ‘Kubanga beerabira endagaano ya Mukama Katonda waabwe ne basinza era ne baweereza bakatonda abalala.’ ”
10 Temukaabira kabaka afudde
oba okumukungubagira,
wabula mukaabire nnyo oyo omuwaŋŋanguse,
kubanga taliddayo kulaba nsi ye nate.
11 Kubanga kino Mukama ky’agamba ku Sallumu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda eyasikira Yosiya n’afuuka kabaka wa Yuda naye n’atwalibwa. “Talidda. 12 Alifiira eyo gye baamutwala nga musibe, taliraba nsi eno nate.”
13 “Zimusanze oyo azimba olubiri ku butali butuukirivu,