Link to home pageLanguagesLink to all Bible versions on this site
18
Olugero lw’Omubumbi n’Ebbumba
1 Kino ky’ekigambo ekyajjira Yeremiya ekyava eri Mukama nti, 2 “Serengeta mu nnyumba y’omubumbi nkuweere eyo obubaka bwange.” 3 Awo ne nserengeta eri ennyumba y’omubumbi ne mmulaba ng’akolera emirimu gye ku nnamuziga. 4 Naye ekintu kye yali abumba kyali kyonoonekedde mu ngalo ze, omubumbi kyeyava akibumbamu ekintu ekirala ng’akibumba nga bwe yasiima.

5 Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kigamba nti, 6 “Gwe ennyumba ya Isirayiri, siyinza nze kubakola ng’omubumbi ono bw’akoze?” bw’ayogera Mukama. “Okufaanana ng’ebbumba mu mukono gw’omubumbi, bwe mutyo bwe muli mu ngalo zange, ggwe ennyumba ya Isirayiri. 7 Ekiseera kyonna bwe nnangirira nti eggwanga oba obwakabaka bwa kusiguukululwa, okumenyebwa era n’okuzikirizibwa, 8 era singa eggwanga lye nalabula lyenenya ebibi byalyo, olwo ndyejjusa ne sibatuusaako kabi ke nnali ŋŋambye okubakola. 9 Era ekiseera kyonna nnangirira ebikwata ku ggwanga oba obwakabaka nti ndizimba era ndisimba, 10 era bwe likola ebibi mu maaso gange, ne litaŋŋondera, ndyejjusa obulungi bwe nagamba okubakolera.

11 “Noolwekyo gamba abantu ba Yuda n’abo ababeera mu Yerusaalemi nti, ‘Kino Mukama ky’ayogera nti, Laba ntekateeka okubatuusaako ekikangabwa era nteesezza okubakola akabi. Kale muve mu makubo gammwe amabi, buli omu ku mmwe, mukyuse enneeyisa yammwe n’ebikolwa byammwe.’ 12 Naye ne boogera nti, ‘Tekirina kye kigasa. Tujja kugenda mu maaso n’entegeka yaffe; buli omu ku ffe anaakolanga ng’obukakanyavu bw’omutima gwe bwe buli.’ ”

13 Noolwekyo bw’ati Mukama ng’agamba nti,

“Mwebuuzeeko mu mawanga.
Ani eyali awuliddeko ekintu bwe kiti?
Muwala wange Isirayiri
akoze ekintu eky’ekivve.
14 Omuzira oguli ku Lebanooni
gwali guwedde ku njazi zaakwo?
Amazzi gaakwo amannyogovu agava ewala
gaali galeseeyoko okukulukuta?
15 Naye ate abantu bange banneerabidde,
banyookezza obubaane eri bakatonda abalala,
abaleetera okwesittala mu makubo gaabwe
era ne mu makubo ag’edda
era ne balaga mu bukubokubo.
16 Ensi yaabwe ya kusigala matongo,
ekintu eky’okusekererwa emirembe gyonna,
abo bonna abayise balyewuunya
era ne banyeenya emitwe gyabwe.
17 Ndibasaasaanya mu maaso g’abalabe baabwe
ng’empewo eva ebuvanjuba;
ndibalaga mabega
so si maaso gange ku lunaku olw’okulabirako ennaku.”

18 Awo ne balyoka bagamba nti, “Mujje tubeeko kye tukola Yeremiya. Kubanga bakabona weebali banaatutegeezanga amateeka, n’amagezi tunaagafunanga ku bagezi, era n’ebyobunnabbi binaavanga mu bannabbi. Kaakano mujje tumulumbe tumuwakanye era tuleme okussaayo omwoyo ku bigambo bye.”

19 Ompulirize, Ayi Mukama,
owulirize abampakanya kye bagamba.
20 Ebikolwa ebirungi binaasasulwanga na bikolwa ebibi?
Bansimidde obunnya.
Ojjukire nga nayimirira mu maaso go
ne nkaaba ku lwabwe,
nga nsaba olekeraawo okubasunguwalira.
21 Noolwekyo abaana baabwe baleke bafe enjala,
obaweeyo battibwe n’ekitala.
Leka bakazi baabwe bafuuke bagumba era babe bannamwandu;
abasajja baabwe battibwe;
abavubuka baabwe batirimbulwe n’ekitala mu lutalo.
22 Leka okukaaba kuwulirwe nga kuva mu nnyumba zaabwe,
bwe banaalumbibwa ne bazindibwa embagirawo,
kubanga bansimidde ekinnya bankwate
era bateze ebigere byange emitego.
23 Naye Ayi Mukama, gw’omanyi byonna,
bye bateesa banzite.
Tobasonyiwa byonoono byabwe
wadde okusangulawo ebibi byabwe mu maaso go.
Obawangulire ddala,
era obabonereze mu kiseera ky’obusungu bwo.

<- Yeremiya 17Yeremiya 19 ->