4 Mukama Katonda n’agamba Gidyoni nti, “Era abalwanyi bo bakyasusse obungi, baserengese ku mugga, eyo gye naabayunguliramu abasaanidde okugenda naawe n’abatasaanidde.”
5 Awo Gidyoni n’aserengesa abalwanyi ku mugga, Mukama Katonda n’amugamba nti, “Buli mulwanyi anaasena amazzi n’engalo ze era n’aganywa ng’embwa mwawule okuva mu abo abanaafukamira ku mugga ne bakubamu emimwa ne banywa. 6 Abo bonna abaasena amazzi n’engalo zaabwe ne baganywa ng’embwa baali ebikumi bisatu, naye abalala bonna baafukamira ku mugga ne bakubamu emimwa okunywa.”
7 Mukama Katonda n’agamba Gidyoni nti, “Nzija kubanunula era mbawe n’obuwanguzi ku ba Midiyaani nga nkozesa abalwanyi ebikumi ebisatu abaanywedde amazzi ng’embwa, naye abo bonna abasigaddewo bagambe beddireyo ewaabwe.” 8 Awo Gidyoni n’asigaza abalwanyi be ebikumi ebisatu, bali abalala n’abakuŋŋaanyaako emmere n’amakondeere gaabwe, n’abalagira ne beddirayo ewaabwe.
13 Gidyoni aba atuuka bw’ati ku lusiisira n’awulira omukuumi ng’ategeeza munne ekirooto nti, “Naloota nga omugaati gwa sayiri guyiringise, gutomedde eweema ne yevuunika.” 14 Munne n’amuddamu nti, “Ekyo si kirala wabula kitala ky’omusajja Omuyisirayiri Gidyoni mutabani wa Yowaasi. Era oyo Katonda amuwadde obuwanguzi ku ba Midiyaani n’eggye lyaffe lyonna.”
15 Gidyoni bwe yamala okuwulira ekirooto ekyo n’amakulu gaakyo, n’avuunama n’asinza Mukama Katonda; era n’addayo mu lusiisira lw’Abayisirayiri n’abalagira nti, “Musitukiremu; kubanga Mukama abawadde obuwanguzi ku ggye ly’Abamidiyaani.” 16 Awo Abasajja bali ebikumi ebisatu n’abawulamu ebibinja bisatu, buli omu ku bo n’amukwasa ekkondeere n’ensuwa ng’erimu ekitawuliro.
17 N’abagamba nti, “Munnekalirize, bwe tunaaba tunaatera okutuuka ku lusiisira buli kye nnaakola nammwe nga mukikola. 18 Nze n’abo benaabeera nabo, bwe tunaafuuwa amakondeere gaffe, nammwe ne mufuuwa agammwe, ne muleekaanira waggulu nti, ‘Ku lwa Mukama Katonda ne ku lwa Gidyoni.’ ”
22 Awo amakondeere ebikumi ebisatu bwe gaafuuyibwa, Mukama Katonda n’atabulatabula Abamidiyaani ne battiŋŋana bokka na bokka n’ebitala byabwe era n’eggye lyabwe lyonna ne lifubutulwa okutuukira ddala e Besusitta okwolekera e Zerera, era n’okutuukira ddala Aberumekola okumpi ne Tabbasi. 23 Abalwanyi ba Isirayiri bonna okuva mu kika ekya Nafutaali n’ekya Aseri n’ekya Manase, ne bakoowoolebwa okuwondera Abamidiyaani. 24 Gidyoni n’asindika ababaka okubuna ekitundu kyonna ekya Efulayimu eky’ensozi: babalagire nti, “Muserengete era muwondere Abamidiyaani, mubasooke okwekwata omugga Yoludaani era n’enzizi okutuukira ddala e Besubata.”