3 Awo kitaawe ne nnyina ne bamugamba nti, “Tewali mukazi n’omu mu baganda bo newaakubadde mu Bantu bange gw’oyinza kuwasa, olyoke ogende ofune omukazi okuva mu Bafirisuuti abatali bakomole?”
8 Ebbanga bwe lyayitawo, n’addayo okumuwasa, naye aba ali ku lugendo, n’akyama okulaba omulambo gw’empologoma, era laba, nga mu mulambo gw’empologoma mulimu enjuki n’omubisi gw’enjuki. 9 N’atoola ku mubisi n’engalo ze, n’atambula n’agenda. Bwe yasiŋŋaana kitaawe ne nnyina nabo n’abawaako ne balya, wabula n’atabagamba nti omubisi ogwo gwe balya aguggye mu mulambo gw’empologoma.
10 Awo n’aserengeta ne kitaawe eri omukazi, era Samusooni n’akolerayo embaga ng’empisa y’abawasa bwe yali. 11 Abafirisuuti bwe bajja okulaba Samusooni, ne bamuwa bannaabwe amakumi asatu okumuwerekerako.
12 Awo Samusooni n’abagamba nti, “Kaakano ka mbakokkolere ekikokko. Bwe mulikivvuunula ennaku omusanvu ez’embaga nga tezinnaggwaako, ndibawa ebyambalo ebya linena amakumi asatu, n’emiteeko gy’engoye amakumi asatu. 13 Naye bwe kinaabalema okuddamu, muteekwa okumpa ebyambalo ebya linena amakumi asatu, n’emiteeko gy’engoye amakumi asatu.” Ne bamugamba nti, “Kokkola ekikokko kyo tukiwulire.”
14 N’abagamba nti,
15 Awo ku lunaku olwokuna ne bagamba mukazi wa Samusooni nti, “Sendasenda balo atuvvuunulire ekikokko. Bwe kitaabe bwe kityo tujja kukwokya omuliro ggwe n’ennyumba ya kitaawo. Mwatuyita kutunyaga, si bwe kiri?” 16 Mukazi wa Samusooni n’agenda gy’ali ng’akaaba amaziga, ng’agamba nti, “Ddala ddala onkyawa so tonjagala. Wakokkolera abasajja b’omu bantu bange ekikokko, naye n’otakivvuunula.”
19 Awo Omwoyo wa Mukama Katonda n’amukkako, n’aserengeta e Asukulooni[b] n’atta abasajja amakumi asatu, n’abambulamu ebyambalo byabwe, engoye zaabwe n’aziwa abavvuunula ekikokko. N’anyiiga nnyo, n’ayambuka n’addayo ewa kitaawe. 20 Mukazi wa Samusooni ne bamuwa mukwano gwe, eyabeeranga ne Samusooni.
<- Ekyabalamuzi 13Ekyabalamuzi 15 ->