11 Mukama Katonda n’addamu abaana ba Isirayiri nti, “Abamisiri n’Abamoli, n’abaana ba Amoni, n’Abafirisuuti, 12 n’Abasidoni, n’Abamaleki, n’Abamawoni,[a] bwe baabanyigiriza ne munkowoola, sabalokola okuva mu mukono gwabwe? 13 Naye mwanvaako ne muweereza bakatonda abalala, noolwekyo sigenda kubalokola nate. 14 Mugende mukaabire bakatonda abo be mwasalawo okuweereza, babalokole mu nnaku yammwe.”
15 Naye abaana ba Isirayiri ne bagamba Mukama Katonda nti, “Twayonoona. Tukole kyonna ky’onoolaba nga kye kitusaanira. Kyokka tulokole kaakano. 16 Ne baggya wakati mu bo bakatonda abalala, ne baweereza Mukama Katonda. Mukama n’alumwa olw’ennaku ya Isirayiri.”
17 Awo abaana ba Amoni ne basiisira mu Gireyaadi, n’abaana ba Isirayiri nabo ne basiisira mu Mizupa. 18 Abakulembeze b’abantu mu Gireyaadi ne bagambagana nti, “Omusajja anaasooka okulumba abaana ba Amoni, ye anaabeera omukulembeze w’abatuuze b’omu Gireyaadi.”
<- Ekyabalamuzi 9Ekyabalamuzi 11 ->- a Abamawoni abo baali ba njawulo ku bantu abaabeeranga mu Mawoni ekya Yuda.