13 Naye mujjukire nti nze Mukama Katonda ow’Eggye, nze Mutukuvu,
nze gwe muba mutya,
era gwe muba mwekengera.
14 Olw’obutukuvu eri ennyumba zombi eza Isirayiri
aliba ejjinja era olwazi kwe bagwa,
era alibeera omutego era ekyambika eri ab’omu Yerusaalemi.
15 Era bangi abaliryesittalako,
bagwe, bamenyeke,
bategebwe bakwatibwe.”
16 Nyweza obujulirwa
okakase amateeka mu bayigirizwa bange.
17 Nange nnaalindirira Mukama Katonda
akwese amaaso ge okuva ku nnyumba ya Yakobo,
mmunoonye n’essuubi.
18 Laba, nze n’abaana Mukama Katonda bampadde tuli bubonero n’ebyewuunyo mu Isirayiri obuva eri Mukama Katonda ow’Eggye, abeera ku lusozi Sayuuni.
19 Abantu bwe babagamba nti mwebuuze ku abo abaliko emizimu, n’abasamize abakaaba ng’ennyonyi era abajoboja, eggwanga tekirigwanira kwebuuza ku Katonda waalyo? Lwaki ebikwata ku balamu mubibuuza abafu? 20 Tudde eri amateeka n’obujulirwa! Bwe baba teboogera bwe batyo, mazima obudde tebugenda kubakeerera. 21 Era baliyita mu nsi nga beeraliikirira nnyo nga balumwa enjala; era enjala bweriyitirira okubaluma ne banyiiga era nga batunudde waggulu balikolimira kabaka ne Katonda waabwe. 22 Era bwe balitunula ku nsi baliraba nnaku na kizikiza, n’entiisa ey’okubonaabona basuulibwe mu kizikiza ekikutte zigizigi.