era kirikufuula w’amaanyi omulamu obulungi ng’omuddo ogukuze.
Olwo kiryoke kimanyibwe nti omukono gwa Mukama Katonda guyamba abaweereza be,
ate obusungu bwe ne bulagibwa abalabe be.
15 “Kubanga laba Mukama Katonda alijjira mu muliro,
era n’amagaali ge ag’embalaasi galiba ng’empewo ey’omuyaga.
Alijja n’obusungu bwe n’ekiruyi
era alibanenya n’ennimi ez’omuliro.
16 Omuliro n’ekitala
Mukama Katonda by’alibonerezesa abantu bonna,
n’abo abalisaanyizibwawo baliba bangi.
17 “Abo abeetukuza balyoke balage mu nnimiro entukuvu okukola eby’emizizo, abatambulira mu nnyiriri nga bwe balya embizzi, omusonso n’emmere ey’omuzizo, bonna balizikirira wamu,” bw’ayogera Mukama Katonda.
18 “Olw’ebyo bye bakola ne bye balowooza, nnaatera okujja nkuŋŋaanye amawanga gonna n’ennimi zonna, era balijja balabe ekitiibwa kyange.
19 “Nditeeka akabonero mu bo. Ndiwonyaako abamu mbasindike mu mawanga, e Talusiisi, e Puuli*Puuli ne Puuti bye bimu. Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya, n’e Luudi, abaleega omutego, eri Tubali ne Yavani,†Yavani ye Buyonaani mu bizinga eby’ewala, abatawuliranga ttutumu lyange, wadde okulaba ekitiibwa kyange. 20 Balikomyawo baganda bammwe bonna okuva mu mawanga nga ekirabo gye ndi. Balibaleetera ku mbalaasi, ne mu magaali ge mbalaasi n’ebigaali ne ku nnyumbu n’eŋŋamira ku lusozi lwange olutukuvu nga Isirayiri bwe baleeta ebiweebwayo ebirongoofu mu nnyumba ya Mukama Katonda. 21 Era ndifuula abamu ku bo okubeera bakabona n’abaleevi,” bw’ayogera Mukama Katonda.
22 “Kubanga nga eggulu eppya n’ensi empya, bye ndikola bwe biribeerawo olw’amaanyi gange, bw’ayogera Mukama Katonda, bwe lityo ezzadde lyammwe n’erinnya lyammwe bwe birisigala. 23 Okuva ku mwezi okutuuka ku mwezi, n’okuva ku ssabbiiti okutuuka ku ssabbiiti, bonna abalina omubiri banajjanga okusinziza mu maaso gange,” bw’ayogera Mukama Katonda. 24 “Kale bwe baliba bafuluma, baliraba emirambo gy’abasajja abanneewaggulako; kubanga envunyu zaabwe tezirifa, so n’omuliro gwabwe tegulizikizibwa; era baliba kyennyinnyalwa eri abantu bonna.”