Link to home pageLanguagesLink to all Bible versions on this site
43
Omulokozi wa Isirayiri Ali Omu Yekka
1 Naye kaakano bw’atyo bw’ayogera Mukama oyo eyakutonda,
ggwe Yakobo,
eyakukola ggwe Isirayiri:
“Totya kubanga nkununudde,
nakuyita nga mpitira ddala erinnya lyo, oli wange.
2 Bw’onooyitanga mu mazzi amawanvu
nnaabeeranga naawe,
ne bw’onooyitanga mu migga
tegirikusaanyaawo;
bw’onooyitanga mu muliro
tegukwokyenga,
ennimi z’omuliro tezirikwokya.
3 Kubanga nze Mukama Katonda wo,
Katonda Omutukuvu owa Isirayiri; Omulokozi wo.
Mpayo Misiri ggwe osobole okuteebwa,
era Kuusi ne Seba mbiwaayo gwe ofune emirembe gyo.
4 Kubanga oli wa muwendo gye ndi, ow’ekitiibwa,
era kubanga nkwagala,
ndiwaayo abasajja ku lulwo
mpeeyo n’abantu ku lw’obulamu bwo.
5 Totya, kubanga nze ndi nawe,
ndireeta ezzadde lyo okuva ebuvanjuba
era nkukuŋŋaanye okuva ebugwanjuba.
6 Ndigamba obukiikakkono nti, ‘Waayo b’olina,’
n’obukiikaddyo nti, ‘Tobagaanira.’
Leeta batabani bange okuva ewala
ne bawala bange okuva ku nkomerero y’ensi.
7 Buli muntu yenna ayitibwa erinnya lyange,
gwe natonda olw’ekitiibwa kyange,
gwe nakola gwe natonda.”
Eggwanga Erirondeddwa nga Omujulirwa
8 Fulumya abo abalina amaaso naye nga tebalaba,
abalina amatu naye nga tebawulira.
9 Amawanga gonna ka gakuŋŋaane
n’abantu bajje.
Ani ku bo eyali ayogedde ku bintu bino?
Ani ku bo eyali alangiridde ebyaliwo?
Leka baleete abajulizi okukakasa nti baali batuufu
abawulira bagambe nti, “Ddala bwe kiri.”
10 “Muli bajulirwa bange,” bw’ayogera Mukama,
“omuweereza wange gwe nalonda:
mulyoke mummanye, munzikirize,
mutegeere nga Nze wuuyo:
Tewali Katonda eyansooka
era teriba mulala alinzirira.
11 Nze, Nze mwene, nze Mukama;
okuggyako nze tewali Mulokozi.
12 Nze naleeta okwolesebwa ne nangirira ne ndokola;
nze so si katonda mulala mugwira mu mmwe.
Muli bajulirwa bange,” bw’ayogera Mukama.
13 “Weewaawo, okuva mu nnaku ez’edda Nze Nzuuyo;
tewali n’omu ayinza okuwonya omuntu mu mukono gwange.
Kye nkola ani ayinza okukikyusa?”
14 Bw’ati bw’ayogera Mukama,
Omununuzi wammwe, Omutukuvu wa Isirayiri nti,
“Ku lwammwe nditumya e Babulooni,
ndeetere ab’e Babulooni bonna nga bawambe
mu byombo ebyabeewanya.
15 Nze Mukama, Omutukuvu wammwe,
Omutonzi wa Isirayiri, Kabaka wammwe.”
 
16 Bw’ati bw’ayogera Mukama,
oyo eyakola ekkubo mu nnyanja,
n’oluguudo mu mazzi amangi ennyo,
17 eyaleetera amagaali, n’embalaasi n’eggye, n’abaali bazze okubayamba,
byonna awamu okugwa omwo,
ne bitaddamu kusituka, nga bizikiridde,
nga bikomye ng’akatambi akabadde kaaka:
18 “Mwerabire eby’emabega,
so temulowooza ku by’ayita.
19 Laba, nkola ekintu ekiggya!
Kaakano kitandise okulabika, temukiraba?
Nkola oluguudo mu ddungu
ne ndeeta emigga mu lukoola.
20 Ensolo ez’omu nsiko zinzisaamu ekitiibwa,
ebibe n’ebiwuugulu;
kubanga nze ngaba amazzi mu ddungu,
n’emigga mu lukoola,
okunywesa abantu bange, abalonde bange,
21 abantu be nnekolera
balangirire ettendo lyange.
 
22 “So tonkowodde ggwe, Yakobo,
era teweekooyeza ggwe Isirayiri.
23 Tondeetedde ndiga ey’ebiweebwayo ebyokebwa,
wadde okunzisaamu ekitiibwa ne ssaddaaka zo.
Sikukaluubirizanga nga nkusaba ebiweebwayo ebyempeke
wadde okukukooya n’obubaane.
24 Tondeeteddeeyo bubaane buwunya kawoowo
wadde okunzikusa n’amasavu ga ssaddaaka zo,
naye onkoyesezza n’ebibi byo,
era n’onteganya n’obutali butuukirivu bwo.
 
25 “Nze, Nze mwene,
nze wuuyo asangula ebyonoono byo ku lwange nze,
so sirijjukira bibi byo.
26 Nzijukiza eby’edda, tuwoze ffembi,
jjangu ensonga tuzoogereko fembi,
yogera ebiraga nga toliiko musango.
27 Kitaawo eyasooka yasobya,
abakulembeze bo baanjemera.
28 Kyendiva ndiswaza abakungu ba yeekaalu yo,
era ndiwaayo Yakobo azikirizibwe
ne Isirayiri aswazibwe.”

<- Isaaya 42Isaaya 44 ->