4 Labusake n’abagamba nti,
11 Awo Eriyakimu ne Sebuna ne Yoswa ne bagamba Labusake nti, “Tukwegayiridde yogera n’abaddu bo mu Lusuuli kubanga tulumanyi, toyogera naffe mu Luyudaaya*Oluyudaaya lwe lulimi olwekikungu olwakozesebwanga mu biro ebyo. Oluyudaaya lwafuukira ddala olulimi Abayudaaya lwe bakozesa okuva mu 5 bc. ng’abantu abali ku bbugwe bawulira.”
12 Naye Labusake n’ayogera nti, “Ebyo ebigambo Mukama wange yantumye kubyogera eri mukama wo n’eri ggwe mwekka, so si n’eri abasajja abatudde ku bbugwe abali nga mmwe abagenda okulya obubi bwabwe n’okunywa omusulo gwabwe?”
13 Awo Labusake n’ayimirira n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka mu lulimi olw’Abayudaaya nti, “Muwulire ebigambo bya kabaka omukulu, kabaka w’e Bwasuli. 14 Kabaka agambye bw’ati nti, Temukkiriza Keezeekiya kubalimbalimba tayinza kubawonya. 15 Temukkiriza Keezeekiya kubasigula ng’abagamba nti, ‘Mukama ddala ajja kutununula, ekibuga kino tekijja kugwa mu mukono gwa Bwasuli.’
16 “Temuwuliriza Keezeekiya kubanga bw’ati bw’ayogera kabaka w’e Bwasuli nti, ‘Mutabagane nange mufulume mujje gye ndi, olwo buli muntu ku mmwe lw’alirya ku muzabbibu gwe na buli muntu ku mutiini gwe, era buli omu alinywa ku mazzi ag’omu kidiba kye, 17 okutuusa lwe ndijja ne mbatwalira ddala mu nsi efaanana ensi yammwe, ensi ey’eŋŋaano ne wayini, ensi ey’emigaati n’ennimiro ez’emizabbibu.’
18 “Mwekuume Keezeekiya aleme okubasendasenda ng’ayogera nti, ‘Mukama alibalokola.’ Waliwo katonda yenna ow’amawanga eyali awonyezza ensi ye mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli? 19 Bali ludda wa bakatonda ab’e Kamasi ne Alupadi? Bali ludda wa bakatonda ab’e Sefarayimu? Baali bawonyezza Samaliya mu mukono gwange? 20 Baani ku bakatonda bonna ab’ensi ezo abaali bawonyezza ensi zaabwe mu mukono gwange? Kale Mukama asobola atya okuwonya Yerusaalemi mu mukono gwange?”
21 Kyokka bo baasirika busirisi tebaddamu, kubanga kabaka yali alagidde nti, “Temumuddamu.”
22 Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya eyali akulira olubiri ne Sebuna Omuwandiisi ne Yoswa mutabani wa Asafu Omukuumi w’ebiwandiiko, ne baddayo eri Keezeekiya nga bayuzizza engoye zaabwe, ne bamubuulira ebigambo bya Labusake.
<- Isaaya 35Isaaya 37 ->- a Oluyudaaya lwe lulimi olwekikungu olwakozesebwanga mu biro ebyo. Oluyudaaya lwafuukira ddala olulimi Abayudaaya lwe bakozesa okuva mu 5 bc.