era baleetedde Misiri okutabukatabuka mu byonna by’ekola,
ng’omutamiivu atagalira mu bisesemye bye.
15 Tewali mukulembeze newaakubadde afugibwa,
agasa ennyo oba agasa ekitono mu Misiri alibaako ky’akola.
16 Ku lunaku luli Abamisiri balibeera ng’abakazi. Balikankana n’entiisa olw’omukono gwa Mukama Katonda ow’Eggye ogugoloddwa gye bali. 17 N’ensi ya Yuda erifuuka ntiisa eri Misiri, buli muntu anagibuulirwangako anatyanga, olw’okuteesa kwa Mukama Katonda ow’Eggye kw’ateesa ku yo.
18 Ku lunaku olwo walibaawo ebibuga bitaano mu nsi y’e Misiri ebyogera olulimi lwa Kanani, era birirayira okwekwata ku Mukama Katonda ow’Eggye. Ekimu kiriyitibwa Ekibuga Ekyokuzikirira. 19 Ku olwo waliteekebwawo ekyoto kya Mukama wakati mu nsi y’e Misiri, era n’ekijjukizo kya Mukama Katonda kiteekebwe ku nsalo. 20 Kaliba kabonero era bujulizi eri Mukama Katonda ow’Eggye mu nsi y’e Misiri. Kubanga balikoowoola Mukama nga balumbiddwa, naye alibaweereza omulokozi, era abalwanirira, era alibalokola. 21 Noolwekyo Mukama alimanyibwa mu Misiri, n’Abamisiri balimanya Mukama era bamusinze ne ssaddaaka, n’ebirabo era balyeyama obweyamo eri Mukama ne babutuukiriza. 22 Era Mukama alibonereza Misiri, ng’akuba, ate ng’awonya. Nabo balidda gy’ali, balimwegayirira era alibawonya.
23 Ku olwo walibaawo oluguudo olugazi oluva mu Misiri olugenda mu Bwasuli, n’Omwasuli alijja mu Misiri, n’Omumisiri n’agenda mu Bwasuli; n’Abamisiri balisinziza wamu n’Abaasuli. 24 Ku olwo Isirayiri eriba yakusatu wamu ne Misiri n’Obwasuli, baliweesa ensi omukisa. 25 Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye abawadde omukisa, ng’ayogera nti, “Baweebwe omukisa Misiri abantu bange, n’Obwasuli omulimu gw’emikono gyange, ne Isirayiri obusika bwange.”