11
Okwagala kwa Katonda eri Isirayiri
1 “Isirayiri bwe yali omwana omuto, namwagala,
era namuyita okuva mu Misiri.
2 Naye buli lwe nayongeranga okuyita Isirayiri,
nabo gye beeyongeranga okusemberayo
ne bawaayo ssaddaaka eri Babaali,
ne bootereza ebifaananyi ebyole obubaane.
3 Nze nayigiriza Efulayimu okutambula,
nga mbakwata ku mukono;
naye tebategeera
nga nze nabawonya.
4 Nabakulembera n’emiguwa egy’okusaasira okw’obuntu,
n’ebisiba eby’okwagala.
Naggya ekikoligo mu bulago bwabwe
ne neetoowaza ne mbaliisa.
5 “Tebaliddayo mu nsi ya Misiri,
era Obwasuli tebulibafuga
kubanga baagaana okwenenya?
6 Ekitala kirimyansiza mu bibuga byabwe
ne kizikiriza ebisiba ebya wankaaki waabwe,
ne kikomya enteekateeka zaabwe.
7 Abantu bange bamaliridde okunvaako.
Ne bwe banaakoowoola oyo Ali Waggulu Ennyo,
taabagulumize.
8 “Nnyinza ntya okukuleka ggwe Efulayimu?
Nnyinza ntya okukuwaayo ggwe Isirayiri?
Nnyinza ntya okukufuula nga Aduma?
Nnyinza ntya okukukola nga Zeboyimu?
Omutima gwange gwekyusiza munda yange,
Mpulira nkukwatiddwa ekisa kingi.
9 Siikole ng’obusungu bwange obungi bwe buli,
so siridda kuzikiriza Efulayimu;
kubanga siri muntu wabula ndi Katonda,
Omutukuvu wakati mu mmwe:
sirijja na busungu.
10 Baligoberera Mukama;
era aliwuluguma ng’empologoma.
Bw’aliwuluguma,
abaana be balijja nga bakankana okuva ebugwanjuba.
11 Balijja nga bakankana
ng’ebinyonyi ebiva e Misiri,
era ng’enjiibwa eziva mu Bwasuli.
Ndibafuula abatuuze mu maka gaabwe,”
bw’ayogera Mukama.
Ekibi kya Isirayiri
12 Efulayimu aneebunguluzza obulimba,
n’ennyumba ya Isirayiri eneebunguluzza obukuusa,
ne Yuda ajeemedde Katonda,