4 Naye Esawu n’adduka okumusisinkana, n’amulamusa ng’amugwa mu kifuba n’amunywegera; bombi ne bakaaba. 5 Esawu bwe yayimusa amaaso ge n’alaba abakazi n’abaana, n’abuuza Yakobo nti, “Bano baani abali naawe?” Yakobo n’amuddamu nti, “Be baana Katonda baawadde omuddu wo mu kisa kye.”
6 Awo abaweereza be abakazi n’abaana baabwe ne basembera, ne bavuunama, mu ngeri y’emu. 7 Leeya n’abaana be nabo ne basembera ne bavuunama. Oluvannyuma Yusufu ne Laakeeri ne basembera nabo ne bavuunama. 8 Esawu n’abuuza Yakobo nti, “Otegeezaaki olwa bino byonna bye nsanze?” Yakobo n’addamu nti, “Lwa kufuna kusaasirwa kwa mukama wange.”
9 Naye ye Esawu n’amugamba nti, “Bye nnina bimmala, muganda wange, by’olina beera nabyo.” 10 Yakobo n’amuddamu nti, “Nedda nkwegayiridde, obanga nfunye okusaasirwa mu maaso go, kale kkiriza ekirabo kyange ekivudde mu ngalo zange. Kubanga ddala okulaba ku maaso go kiri ng’okulaba amaaso ga Katonda, olw’ekisa ekyo ky’onnyaniririzzaamu. 11 Nkwegayiridde kkiriza ekirabo kyange ekikuleeteddwa, kubanga Katonda andaze ekisa kye, era siri mu bwetaavu.” Bw’atyo Esawu n’akikkiriza.
12 Awo Esawu n’agamba nti, “Kale tutambule, nze nzija okukukulemberamu.”
13 Naye Yakobo n’amuddamu nti, “Mukama wange amanyi nti abaana banafu, era n’ebisibo biyonsa, era singa bitambuzibwa awatali busaasizi bijja kufa. 14 Mukama wange k’aleke omuddu we, nze nzija kujja mpola, okusinziira ku ntambula y’ebisolo ebikulembedde, era ne ku ntambula y’abaana, okutuusa lwe ndituuka mu Seyiri.”
18 Era Yakobo n’atuuka mirembe mu kibuga Sekemu, mu nsi ya Kanani, ng’ava e Padanalaamu, n’asiisira okwolekera ekibuga. 19 Abaana ba Kamoli kitaawe wa Sekemu ne bamuguza ekitundu mwe yasiisira, n’abasasula ebitundu bya ffeeza kikumi. 20 N’azimbira eyo ekyoto n’akiyita Ekyoto kya Katonda wa Isirayiri.
<- Olubereberye 32Olubereberye 34 ->