Link to home pageLanguagesLink to all Bible versions on this site
12
Okuyitibwa kwa Ibulaamu
1 Awo Mukama n’agamba Ibulaamu nti, “Vva mu nsi yannyo ne mu bantu bo ne mu nnyumba ya kitaawo ogende mu nsi gye ndikulaga.
2 “Nange ndikufuula eggwanga eddene,
era ndikuwa omukisa,
n’erinnya lyo ne ndifuula kkulu,
olyoke obeere mukisa.
3 Ndiwa omukisa abo abakusabira omukisa,
era buli alikukolimira nange namukolimiranga;
era mu ggwe amawanga gonna ag’omu nsi
mwe galiweerwa omukisa.”

4 Bw’atyo Ibulaamu n’agenda nga Mukama bwe yamugamba, ne Lutti n’agenda wamu naye. Ibulaamu we yaviira mu Kalani yali aweza emyaka nsanvu mu etaano. 5 Ibulaamu n’atwala Salaayi mukazi we, ne Lutti mutabani wa muganda we ne byonna bye baalina bye baali bafunye, n’abantu baabwe be baafunira mu Kalani, ne basitula okugenda mu Kanani. Ne batuuka mu nsi ya Kanani.

6 Ibulaamu n’ayita mu nsi n’atuuka mu kifo ekiyitibwa Sekemu awali emivule gya Mole. Mu biro ebyo Abakanani be baali mu nsi omwo. 7 Awo Mukama n’alabikira Ibulaamu n’agamba nti, “Ensi eno ndigiwa abo abaliva mu ggwe.” Awo Ibulaamu n’azimbira eyo Mukama ekyoto eyamulabikira.

8 Bw’atyo n’alaga ku lusozi ku luuyi olw’ebuvanjuba obwa Beseri, n’asimba eweema ye nga Beseri ali ku luuyi olw’ebugwanjuba, ne Ayi ngali ku luuyi olw’ebuvanjuba, n’azimbira eyo Mukama ekyoto, n’akoowoola erinnya lya Mukama. 9 Ibulaamu ne yeeyongera okutambula ng’ayolekera Negevu*Negevu kitegeeza ensi enkalu, era lwe lusenyi oludda mu bukiikaddyo obwa Yerusaalemi n’okudda mu ddungu..

Ibulaamu Agenda e Misiri
10 Ne wagwa enjala mu nsi. Bw’atyo Ibulaamu n’aserengeta e MisiriMisiri teyakosebwa kyeya, kubanga baalina enzizi ezaafukiriranga ebirime byabwe. asengukireko eyo, kubanga enjala nnyingi eyali mu nsi. 11 Bwe yali anaatera okuyingira mu Misiri, n’agamba Salaayi mukazi we nti, “Mmanyi ng’oli mukazi mulungi era mubalagavu, 12 era Abamisiri bwe balikulabako baligamba nti, ‘Ono ye mukazi we,’ kale balinzita, naye ggwe ne bakuleka. 13 Ogambanga nti, Oli mwannyinaze ndyoke mbeere bulungi ku lulwo, n’obulamu bwange buleme kubaako kabi, buwone ku lulwo.”

14 Ibulaamu bwe yayingira mu Misiri, Abamisiri ne balaba Salaayi nga mukazi mulungi nnyo. 15 N’abakungu ba Falaawo bwe baamulaba ne bamutendera Falaawo ne bamutwala mu lubiri lwa Falaawo. 16 Ku lwa Salaayi, Falaawo n’ayisa bulungi Ibulaamu. Ibulaamu n’aweebwa endiga, n’ente, n’endogoyi, n’abaweereza abasajja, n’abaweereza abakazi, n’endogoyi enkazi, n’eŋŋamira.

17 Naye Mukama n’aleetera Falaawo n’ennyumba ye endwadde enkambwe olwa Salaayi mukazi wa Ibulaamu. 18 Awo Falaawo n’ayita Ibulaamu n’amugamba nti, “Kiki kino ky’onkoze? Lwaki tewantegeeza nti mukazi wo? 19 Lwaki wagamba nti mwannyoko, ne mmutwala okuba mukazi wange? Kale kaakano mukazi wo wuuno mmutwale mugende.” 20 Falaawo n’alagira basajja be ebikwata ku Ibulaamu, ne bamusindiikiriza n’ava mu nsi ne mukazi we ne byonna bye yalina.

<- Olubereberye 11Olubereberye 13 ->