7 Kale mumanye nti abo abakkiriza be baana ba Ibulayimu. 8 Olw’okuba nga baategeera ebiribaawo n’ekyawandiikibwa, ng’olw’okukkiriza, Katonda aliwa amawanga obutuukirivu, Enjiri kyeyava ebuulirwa Ibulayimu edda nti, “Mu ggwe amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa.” 9 Noolwekyo abo abakkiriza bagabanira wamu omukisa ne Ibulayimu eyakkiriza.
10 Naye abo abafugibwa ebikolwa eby’amateeka, bafugibwa kikolimo; kubanga kyawandiikibwa nti, “Buli ataagobererenga byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo ky’amateeka, akolimiddwa.” 11 Kimanyiddwa bulungi nti tewali n’omu Katonda gw’awa butuukirivu olw’okukuuma amateeka, kubanga abatuukirivu banaabeeranga balamu lwa kukkiriza, 12 naye amateeka tegeesigama ku kukkiriza, naye anaagagobereranga anaabeeranga mulamu mu go. 13 Kristo yatununula okuva mu kikolimo ky’amateeka, bwe yafuuka ekikolimo ku lwaffe, kubanga kyawandiikibwa nti, “Akolimiddwa buli awanikiddwa ku muti.” 14 Kale kaakano amawanga gaweebwe omukisa gwa Ibulayimu, mu Kristo Yesu, tulyoke tuweebwe ekyasuubizibwa eky’Omwoyo olw’okukkiriza.
19 Kale lwaki amateeka gaateekebwawo? Gaagattibwa ku kisuubizo olw’aboonoonyi okutuusa ezzadde eryasuubizibwa lwe lirikomawo, nga lyawulibbwa mu bamalayika olw’omukono gw’omutabaganya. 20 Naye omutabaganya si w’omu, naye Katonda ali omu.
21 Amateeka galwanagana n’ebyo Katonda bye yasuubiza? Kikafuuwe. Kubanga singa amateeka gaali galeeta obulamu, ddala ddala amateeka gandituwadde obutuukirivu. 22 Naye ebyawandiikibwa bitegeeza nti ebintu byonna bifugibwa kibi, ekyasuubizibwa kiryoke kiweebwe abakkiriza olw’okukkiriza mu Yesu Kristo.
23 Naye okukkiriza nga tekunnajja, twafugibwanga mateeka, nga tusibibwa olw’okukkiriza okugenda okubikkulwa; 24 ge gaali gatukuuma, amateeka galyoke gatutuuse eri Kristo, tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw’okumukkiriza. 25 Naye okukkiriza bwe kwajja, ng’olwo tetukyetaaga mateeka kutukuuma.