1 Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri, mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri ku lunaku olw’olubereberye, ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 2 “Omwana w’omuntu, tandika okukungubagira Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, omutegeeze nti:
“ ‘Oli ng’empologoma mu mawanga,
ng’ogusota wakati mu nnyanja,
ng’owaguza mu migga gyo,
era ng’otabangula amazzi,
n’osiikuula n’emigga.
3 “ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
“ ‘Ndikusuulako akatimba kange,
ne nkusindikira ekibiina ky’abantu ekinene,
era balikuvuba n’akatimba kange.
4 Ndikusuula ku lukalu, ne nkuleka ku ttale,
era ebinyonyi byonna eby’omu bbanga birikukkako,
n’ensolo enkambwe zonna ez’omu nsi zirikulya
ne zikkusibwa.
5 Ndisaasaanya ennyama ey’omubiri gwo ku nsozi,
era ndijjuza ebiwonvu amagumba go.
6 Nditotobaza ensi n’omusaayi gwo
okutuukira ddala ku nsozi,
era ndijjuza zonna ennyama ey’omubiri gwo.
7 Bwe ndikusaanyaawo,
ndibikka eggulu
ne nfuula emmunyeenye zaakwo
okubaako ekizikiza;
8 Ndibikka omusana n’ekire, era n’omwezi tegulireeta kitangaala kyagwo.
17 Mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri, ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi ogwo, ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 18 “Omwana w’omuntu, kaabirako ku nkuyanja y’abantu b’e Misiri, obasindike emagombe ye n’abawala bannaggwanga abaayatiikirira, n’abo abakka mu bunnya. 19 Babuuze nti, ‘Olowooza gw’osinga okwagalibwa? Ggenda oteekebwe n’abatali bakomole.’ 20 Baligwa mu abo abattiddwa ekitala, era n’ekitala kisowoddwa, leka atwalibwe n’enkuyanja y’abantu be. 21 Okuva emagombe abakulembeze ab’amaanyi balyogera ku Misiri ne be yeekobaana nabo nti, ‘baserengese, era bagalamidde awali abatali bakomole, abattibwa n’ekitala.’
22 “Asuli ali eyo n’eggye lye lyonna; yeetooloddwa amalaalo ag’abattibwa n’ekitala. 23 Amalaalo ge gali wansi mu bunnya, n’emirambo gy’eggye lye gyetoolodde amalaalo ge. Abo bonna abaaleeta entiisa mu nsi ey’abalamu battiddwa, bagudde n’ekitala.
24 “Eramu naye ali eyo, n’enkuyanja y’abantu be bonna beetoolodde amalaalo ge. Bonna baafa, battibwa n’ekitala. Bonna abaaleeta entiisa mu nsi ey’abalamu bakka emagombe nga si bakomole, be bagenda wansi mu bunnya nga balina n’ensonyi. 25 Bamwalidde ekitanda wakati mu battibwa n’enkuyanja y’abantu be bonna okwetooloola amalaalo ge. Bonna tebaali bakomole, era battibwa n’ekitala kubanga baatiisatiisanga ensi ey’abalamu. Bajudde ensonyi wamu n’abo abakka emagombe, era bagalamidde wakati mu abo abattiddwa.
26 “Meseki ne Tubali nabo gye bali n’enkuyanja y’abantu baabwe era beetoolodde amalaalo gaabwe. Bonna tebaali bakomole, era battibwa n’ekitala kubanga baatiisatiisanga ensi ey’abalamu. 27 Tebaliziikibwa ng’abakungu, naye baliziikibwa ng’abasajja abalwanyi abazira abatali bakomole, abaaserengeta emagombe n’ebyokulwanyisa byabwe, abaatikkibwa ebitala byabwe ku mitwe gyabwe. Obutali butuukirivu bwabwe bwali ku magumba gaabwe kubanga baaleeta entiisa eri abasajja ab’amaanyi mu nsi ey’abalamu.
29 “Edomu naye ali eyo, bakabaka be n’abalangira be, newaakubadde nga baamaanyi, emirambo gyabwe gigalamidde n’egya bali abattibwa n’ekitala. Bagalamidde n’abatali bakomole mu bunnya.
30 “Abalangira bonna ab’omu bukiikakkono n’Abasidoni bonna nabo bali eyo; baaziikibwa mu nsonyi n’abattibwa newaakubadde nga baakola eby’entiisa nga be balina obuyinza. Bagalamidde nga si bakomole wamu n’abattibwa n’ekitala, nga balina ensonyi n’abo abakka emagombe.
31 “Era Falaawo, bw’alibalaba, alyekubagiza olw’eggye lye eryattibwa n’ekitala, bw’ayogera Mukama Katonda. 32 Newaakubadde nga namukozesa okutiisatiisa ensi ey’abalamu Falaawo n’enkuyanja y’abantu be baligalamira mu batali bakomole, n’abattibwa n’ekitala, bw’ayogera Mukama Katonda.”