10 “ ‘Mukama Katonda kyava ayogera bw’ati nti; Kubanga gwegulumiza, ne gwewanika waggulu okuyita mu kasolya ak’ekibira, ate ne guba n’amalala olw’obuwanvu bwagwo, 11 kyendiva nguwaayo mu mukono gw’omufuzi ow’amawanga agukole ng’obutali butuukirivu bwagwo bwe buli, era ngugobye. 12 Era bannaggwanga abasingirayo ddala obukambwe baagutema ne bagusuula. Amatabi gaagwo amanene gaagwa ku nsozi ne mu biwonvu byonna, n’amatabi gaagwo amatono ne gagwa nga gamenyese mu biwonvu byonna eby’ensi. N’amawanga gonna ag’oku nsi gaava wansi w’ekisiikirize kyagwo, ne gagulekawo. 13 Ebinyonyi byonna eby’omu bbanga ne bituula ku matabi agaagwa, era n’ensolo enkambwe ez’oku ttale zonna ne zibeera mu matabi gaagwo. 14 Kyewaliva walema okubaawo emiti okumpi n’amazzi egirikula ne giwanvuwa ne gyegulumiza n’okutuuka okuyita mu kasolya k’ekibira. Era tewalibaawo miti mirala egyafukirirwa obulungi egiriwanvuwa okutuuka awo, kubanga gyonna giweereddwayo eri okufa, okugenda emagombe, mu bantu abaabulijjo, n’abo abakka mu bunnya.
15 “ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ku lunaku lwe gwaleetebwa wansi emagombe, enzizi zaagukaabira, era naziyiza n’emigga gyagwo, n’amazzi gaagwo amangi okukulukuta. Ku lulwe nayambaza Lebanooni obuyinike, n’emiti gyonna egy’oku ttale ne gikala. 16 Naleetera amawanga okukankana olw’eddoboozi ery’okugwa kwagwo bwe naguserengesa emagombe n’abo abaserengeta wansi mu bunnya. Olwo emiti gyonna egya Adeni, egy’amaanyi era egisingayo obulungi egya Lebanooni emiti gyonna egyali gifukiriddwa obulungi amazzi, ne gizzibwamu amaanyi wansi mu nsi. 17 Abo bonna ababeera mu kisiikirize kyagwo, n’amawanga agassanga ekimu nabo, bakirira nabo emagombe ne beegatta ku abo abattibwa n’ekitala.
18 “ ‘Muti ki mu gy’omu Adeni ogw’enkana naawe mu bukulu mu kitiibwa kyo? Era naye, olisuulibwa wamu n’emiti egy’omu Adeni n’oserengeta emagombe, n’ogalamira eyo wamu n’abatali bakomole, n’abo abattibwa n’ekitala.